
7
17:1 Zab 45:13Ebigere byo nga birungi mu ngatto, ggwe omwana w’omulangira!
Ennyingo z’ebisambi byo ziri ng’eby’obuyonjo,
Omulimu ogw’emikono gy’omukozi omukabakaba.
2Ekkundi lyo kikompe kyekulungirivu,
Omutabuze mwenge gwonna ogutabulwa:
Olubuto lwo ntuumu ya ŋŋaano
Eyonjebwa n’amalanga.
37:3,4 Lu 4:4,5Amabeere go gombi gali ng’abalongo ababiri
Abaana b’empeewo.
4Ensingo yo eri ng’ekigo eky’amasanga;
Amaaso go gali nga ebidiba ebiri mu Kesuboni, awali omulyango ogw’e Basulabbimu:
Ennyindo yo eri ng’ekigo eky’oku Lebanooni
Ekyolekera Ddamasiko.
5Omutwe gwo guli ku ggwe nga Kalumeeri,
N’enviiri ez’oku mutwe gwo ng’olugoye olw’effulungu;
Kabaka emibumbo gyazo gimusiba.
6Ng’oli mulungi, ng’owoomerera,
Ai gwe njagala, olw’okusanyusa!
7Obuwanvu bwo buno buli ng’olukindu,
N’amabeere go ng’ebirimba by’ezabbibu.
8N’ayogera nti Naalinnya mu lukindu olwo,
Naakwata amatabi gaalwo:
Amabeere go gabe ng’ebirimba eby’oku muzabbibu,
N’akawoowo k’omukka gwo ng’amacungwa;
9N’akamwa ko ng’omwenge ogusinga obulungi,
Ogumirwa obulungi oyo gwe njagala, nga guseeyeeya,
Nga guyita mu mimwa gy’abo abeebase.
107:10 Zab 45:11, Lu 2:16Nze ndi wa muganzi wange,
N’okwegomba kwe kuli eri nze.
11Jjangu, muganzi wange, tufulume mu nsiko;
Tusule mu byalo.
127:12 Lu 2:13,15; 6:11Tugende mu nsuku z’emizabbibu mu makya;
Tulabe omuzabbibu oba nga gumulisizza, n’ekimuli kyagwo oba nga kyeyanjuluzza,
N’emikomamawanga oba nga gyanyizza:
Naakuweera eyo okwagala kwange.
137:13 Lub 30:14, Lu 4:13Amadudayimu gawunya kaloosa,
Ne ku nzigi zaffe waliwo ebibala eby’omuwendo omungi eby’engeri zonna, ebiggya n’ebikadde,
Bye nkuterekedde, ai muganzi wange.