
6
16:1 Lu 1:8Muganzi wo agenze wa,
Ggwe akira abakazi bonna obulungi?
Muganzi wo yeekyusiririzza wa,
Tumunoonyeze wamu naawe?
26:2 Lu 4:16Muganzi wange aserengetedde mu nnimiro ye, mu misiri egy’emiddo egy’akaloosa,
Okuliira mu nnimiro, n’okunoga amalanga.
36:3 Lu 2:16Nze ndi wa muganzi wange, ne muganzi wange wange:
Aliisa ekisibo kye mu malanga.
46:4 Zab 50:2, Kung 2:15Oli mulungi, ai gwe njagala, nga Tiruza,
Owooma nga Yerusaalemi,
Wa ntiisa ng’eggye eririna ebendera.
56:5-7 Lu 4:1-3Nziyaako amaso go,
Kubanga gampangudde.
Enviiri zo ziri ng’eggana ly’embuzi,
Ezigalamira ku mbiriizi z’olusozi Gireyaadi.
6Amannyo go gali ng’eggana ly’endiga enkazi,
Ezirinnye okuva mu kunaazibwa;
Buli emu ku zo ng’ezadde abaana abalongo,
So tekuli ku zo efiiriddwa n’emu.
7Ekyenyi kyo kiri ng’ekitundu ky’ekkomamawanga
Ennyuma w’olugoye lw’obisse ku maaso.
8Waliwo bakabaka abakazi nkaaga, n’abazaana kinaana,
N’abawala abatamanyi musajja abatabalika.
9Ejjiba lyange, owange ataliiko bbala, ali omu yekka;
Mwana wa nnyina omu yekka;
Mulonde w’omukazi amuzaala.
Abawala baamulaba ne bamuyita eyaweebwa omukisa;
Bakabaka abakazi n’abazaana baamulaba ne bamutendereza.
10Ani oyo atunula ng’emmambya,
Omulungi ng’omwezi,
Atangalijja ng’enjuba,
Ow’entiisa ng’eggye eririna ebendera?
116:11 Lu 7:12N’aserengetera mu nnimiro ey’emmere erimu emiramwa,
Okulaba ebisimbe ebibisi eby’omu kiwonvu,
Okulaba omuzabbibu oba nga gumulisizza,
N’emikomamawanga oba nga gyanyizza.
12Nga sinnamanya emmeeme yange ne nteeka
Mu magaali g’abantu bange ab’ekikungu.
13Komawo, komawo, ggwe Omusulamu;
Komawo, komawo, tukutunuulire.
Kiki ekibaagaza okutunuulira Omusulamu,
Ng’amazina ga Makanayimu?