
5
15:1 Lu 4:11,16; 6:2, Yok 3:29Nzize mu nnimiro yange, mwannyinaze mugole wange:
Nnoze mooli yange n’eby’akaloosa byange;
Ndidde ebisenge byange eby’enjuki n’omubisi gwange;
Nnywedde omwenge gwange n’amata gange.
Mulye, mmwe ab’omukwano;
Munywe, weewaawo, mukkute, mmwe baganzi bange.
25:2 Lu 4:7Nnali neebase, naye omutima
gwange nga gulaba:
Lye ddoboozi lya muganzi wange, akoona ng’ayogera nti
Nzigulira, mwannyinaze, gwe njagala, ejjiba lyange, owange ataliiko bbala:
Kubanga omutwe gwange gutobye omusulo,
Emivumbo gy’enviiri zange gitobye amatondo ag’ekiro.
35:3 Luk 11:7Nnyambudde ekizibawo kyange; naakyambala ntya?
Nnaabye ebigere: naabyonoona ntya?
4Muganzi wange n’ayingiza omukono gwe awali ekituli eky’omu luggi,
Omwoyo ne gunnuma ku lulwe.
5Ne ngolokoka okuggulirawo muganzi wange;
Emikono gyange ne gitonnya mooli,
N’engalo zange nga zitonnya mooli ekulukuta,
Ku mikonda egy’ekisiba.
65:6 Nge 1:28, Lu 3:1Ne nzigulirawo muganzi wange;
Naye muganzi wange yali nga yeegendedde, ng’avuddewo.
Omwoyo gwange gubadde guntyemuse bw’ayogedde:
Ne mmunoonya, naye ne ssiyinza kumulaba;
Ne mmuyita, naye n’atanziramu.
75:7 Lu 3:3Abakuumi abatambulatambula mu kibuga ne bandaba,
Ne bankuba ne banfumita;
Abakuumi ba bbugwe ne banziyako omunagiro gwange.
85:8 Lu 2:5,7Mbalayiza, mmwe abawala ba Yerusaalemi, bwe munaalaba muganzi wange,
Mumubuulirenga ng’okwagala kugenda kunzita.
9Muganzi wo kye ki okusinga omuganzi omulala,
Ggwe akira abakazi bonna obulungi?
Muganzi wo kye ki okusinga omuganzi omulala,
N’okulayira n’otulayiza bw’otyo?
10Muganzi wange mutukuvu era mumyufu
Atabula mu kakumi.
11Omutwe gwe guli nga zaabu ennungi ennyo nnyini,
Emivumbo gy’enviiri ze gya masadde era middugavu nga nnamuŋŋoona.
125:12 Lu 1:15Amaaso ge gali ng’amayiba ku mabbali g’obugga obw’amazzi;
Agaanaazibwa n’amata era agaateekebwamu obulungi.
13Amatama ge gali ng’omusiri ogw’emiddo egy’akaloosa, ng’ebifunvu ebimerako enva eziwunya obulungi:
Emimwa gye giri ng’amalanga, nga gitonnya mooli ekulukuta.
14Emikono gye giri ng’empeta eza zaabu eziteekebwamu berulo:
Omubiri gwe guli ng’omulimu ogw’amasanga ogubikkiddwako safiro.
15Amagulu ge gali ng’empagi ez’amayinja amanyirivu ezisimbibwa ku binnya ebya zaabu ennungi:
Enfaanana ye eri nga Lebanooni, ewooma nnyo nnyini ng’emivule.
165:16 Zab 45:2Akamwa ke kalungi nnyo nnyini: weewaawo, yenna wa kwagalwa.
Muganzi wange bw’ali bw’atyo, era bw’ali bw’atyo mukwano gwange,
Mmwe abawala ba Yerusaalemi.