
4
14:1 Lu 1:15; 6:5Laba, oli mulungi, gwe njagala; laba, oli mulungi;
Amaaso go mayiba ennyuma w’olugoye lw’ogabisseeko:
Enviiri zo ziri ng’eggana ly’embuzi,
Ezigalamidde ku mbiriizi z’olusozi Gireyaadi.
24:2 Lu 6:6Amannyo go gali ng’eggana ly’endiga ezaakajja zisalibweko ebyoya,
Ezirinnye okuva mu kunaazibwa;
Buli emu ku zo ng’ezadde abaana abalongo,
So tekuli ku zo efiiriddwa n’emu.
34:3 Lu 6:7Emimwa gyo giri ng’ewuzi ey’olugoye olutwakaavu,
N’akamwa ko kalungi:
Ekyenyi kyo kiri ng’ekitundu ky’ekkomamawanga
Ennyuma w’olugoye lw’obisse ku maaso.
44:4 Nek 3:19, Lu 7:4, Ez 27:11Ensingo yo eri ng’ekigo kya Dawudi ekyazimbibwa okuterekamu ebyokulwanyisa,
Omuwanikibwa engabo olukumi,
Engabo zonna ez’abasajja ab’amaanyi.
54:5 Lu 7:3Amabeere go gombi gali ng’abalongo ababiri abaana b’empeewo,
Abaliira mu malanga.
64:6 Lu 2:17Okutuusa obudde nga bukedde, ebisiikirize ne biddukira ddala,
Neegendera eri olusozi olwa mooli.
N’eri akasozi ak’omugavu.
74:7 Lu 5:2, Bef 5:27Oli mulungi wenna, gwe njagala;
So ku ggwe tekuli bbala.
84:8 Ma 3:9, 1 Byom 5:23Jjangu tugende ffembi okuva ku Lebanooni, mugole wange,
Ffembi okuva ku Lebanooni:
Lengera ng’oyima ku ntikko ya Amana,
Ku ntikko ya Seniri ne Kerumooni,
Ng’oyima awali empuku ey’empologoma,
Ku nsozi ez’engo.
94:9 Lu 5:1Osanyusizza omutima gwange, mwannyinaze, mugole wange;
Osanyusizza omutima gwange, n’eriiso lyo erimu,
N’omukuufu ogumu ogw’omu bulago bwo.
104:10 Lu 1:1-4Okwagala kwo nga kulungi, mwannyinaze, mugole wange!
Okwagala kwo nga kusinga nnyo omwenge;
N’amafuta go ag’omugavu nga gasinga nnyo eby’akaloosa eby’engeri zonna okuwunya obulungi.
114:11 Nge 5:3, Kos 14:6Emimwa gyo, ai mugole wange, gitonnya ng’ebisenge by’enjuki:
Omubisi gw’enjuki n’amata biri wansi w’olulimi lwo;
N’okuwunya kw’ebyambalo byo kuli ng’okuwunya kwa Lebanooni.
124:12 Lub 29:3, Nge 5:15Mwannyinaze, mugole wange, lwe lusuku olwasibibwa;
Lwe luzzi olwasibibwa, ye nsulo eyateekebwako akabonero.
13Ebimera byo lusuku lwa mikomamawanga, olulina ebibala eby’omuwendo omungi;
Kofera n’emiti egy’omugavu:
14Omugavu ne kalikomu,
Kalamo ne kinamomo, n’emiti gyonna egy’omugavu;
Mooli ne akalosi, wamu n’eby’akaloosa byonna ebisinga obulungi.
154:15 Yok 4:10Ggwe nsulo y’ennimiro,
Oluzzi olw’amazzi amalamu,
Era emigga egikulukuta egiva ku Lebanooni.
164:16 Lu 6:2Muzuukuke, mmwe embuyaga eziva obukiika obwa kkono; nammwe mujje, ez’obukiika obwa ddyo:
Mukuntire ku nnimiro yange, eby’akaloosa ebyamu bikulukute.
Muganzi wange ajje mu nnimiro ye;
Alye ebibala bye eby’omuwendo omungi.