
1
11:1 1 Bassek 4:32Oluyimba olusinga ennyimba, lwe lwa Sulemaani.
2Annywegere n’okunywegera kw’akamwa ke:
Kubanga okwagala kwo kusinga omwenge obulungi.
31:3 Mub 7:1, Yok 12:3Amafuta go gawunya akaloosa;
Erinnya lyo liriŋŋanga amafuta agafukibwa;
Abawala abatamanyi musajja kyebava bakwagala.
41:4 Zab 45:14,15, Yer 31:3, Kos 11:4, Yok 6:44, Baf 3:12Mpalula: tunaakugoberera mbiro:
Kabaka annyingizizza mu bisenge bye:
Tunaakusanyukira ne tujaguza,
Okwagala kwo tunaakwogerako okusinga omwenge:
Bakwagala lwa nsonga.
5Ndi muddugavu, naye mulungi,
Mmwe abawala ba Yerusaalemi,
Ng’eweema ez’e Kedali.
Ng’amagigi ga Sulemaani.
61:6 Lu 8:11, 1 Kol 9:27Temuntunuulira kubanga ndi muddugavu.
Kubanga omusana gunjokezza.
Abaana ba mmange bansuguwalira,
Banfuula omukuumi w’ensuku ez’emizabbibu;
Naye olusuku lwange nze saalukuuma.
71:7 Ez 34:14,15Mbuulira, ggwe emmeeme yange gw’eyagala,
Gy’oliisiza ekisibo kyo, gy’okigalamiriza mu ttuntu;
Kubanga nandibeeredde ki ng’ayambadde ekibikka ku maaso
Awali ebisibo bya banno?
8Oba nga tomanyi, ggwe asinga abakazi bonna obulungi,
Fuluma okwate ekkubo ogoberere ebigere by’endiga zo,
Oliisize abaana b’embuzi zo awali eweema ez’abasumba.
91:9 2 Byom 1:16Nkufaananyizza, ai muganzi wange,
Embalaasi eri ku magaali ga Falaawo.
101:10 Ez 16:11Amatama go malungi n’emivumbo emirange,
Ensingo yo nnungi n’embu ez’eby’obuyonjo.
11Tunaakukolera emivumbo egya zaabu
N’amapeesa aga ffeeza.
121:12 Yok 12:3Kabaka bwe yali ng’atudde ku mmeeza ye,
Amafuta gange ag’omugavu ne gawunya akaloosa kaago.
13Muganzi wange ali gye ndi ng’omuvumbo gwa mooli,
Oguteekebwa wakati w’amabeere gange.
14Muganzi wange ali gye ndi ng’ekisaaganda ky’ebimuli ebya kofera
Mu nsuku ez’emizabbibu ez’e Engedi.
151:15 Lu 4:1Laba, oli mulungi, gwe njagala; laba, oli mulungi;
Amaaso go mayiba.
16Laba, oli mulungi, muganzi wange, weewaawo, wa kusanyusa:
Era ekitanda kyaffe kya malagala mato.
17Emikiikiro gy’ennyumba yaffe mivule,
N’enzooba zaffe nkanaga.