
99
199:1 Zab 80:1; 93:1; 96:9, Is 24:19Mukama afuga; amawanga gakankane;
Atuula wakati wa bakerubi; ensi esagaasagane.
299:2 Zab 113:4, Is 24:23Mukama mukulu mu Sayuuni;
Era ali waggulu okusinga amawanga gonna.
399:3 Ma 28:58, Yos 24:19, Is 6:3Batendereze erinnya lyo ekkulu era ery’entiisa.
Ye mutukuvu.
499:4 Ma 32:4, Is 61:8, Yer 23:5Era amaanyi ga kabaka gaagala omusango ogw’ensonga;
Ggwe onyweza obutuukirivu,
Otuukiriza omusango n’obutuukirivu mu Yakobo.
599:5 Kuv 15:2, 1 Byom 28:2, Zab 118:28; 132:7, Is 60:13Mumugulumizenga Mukama Katonda waffe,
Era musinzizenga ku ntebe y’ebigere bye:
Ye mutukuvu.
699:6 Kuv 17:11, Leev 8:12, 1 Sam 7:9, Yer 15:1Musa ne Alooni mu bakabona be,
Ne Samwiri mu abo abakoowoola erinnya lye;
Baakaabira Mukama, n’abayitaba.
799:7 Kuv 33:9, Kubal 12:5Yayogerera nabo mu mpagi ey’ekire:
Baakwata bye yategeeza, n’ekiragiro kye yabawa.
899:8 Kuv 32:35, Kubal 14:20; 20:12, Ma 9:20Wabaddamu, ai Mukama Katonda waffe:
Wali Katonda abasonyiwa,
Newakubadde nga wabawalana eggwanga olw’ebikolwa byabwe.
999:9 Zab 2:6Mumugulumizenga Mukama Katonda waffe,
Musinzizenga ku lusozi lwe olutukuvu;
Kubanga Mukama Katonda waffe mutukuvu.