
98
Zabbuli.
198:1 Kuv 15:6, Zab 33:3; 96:3, Is 59:16, Luk 1:51Mumuyimbire Mukama oluyimba oluggya;
Kubanga akoze eby’amagero:
Engalo ze eza ddyo, n’omukono gwe omutukuvu bimuleetedde obulokozi.
298:2 Is 52:10; 62:2, Luk 2:30,31, Bar 3:25,26Mukama amanyisizza obulokozi bwe:
Obutuukirivu bwe abwolekerezza ddala mu maaso g’amawanga.
398:3 Ma 4:31, Is 49:6, Luk 1:54,72; 3:6Ajjukidde okusaasira kwe n’obwesigwa bwe eri ennyumba ya Isiraeri:
Enkomerero zonna ez’ensi zirabye obulokozi bwa Katonda waffe.
498:4 Zab 66:1, Is 44:23Muyimbe n’eddoboozi ery’essanyu
eri Mukama, mmwe ensi zonna:
Muleete oluyimba muyimbe olw’essanyu, weewaawo, muyimbe eby’okutendereza.
5Muyimbe okutendereza Mukama n’ennanga;
N’ennanga era n’eddoboozi eriyimba.
698:6 Kubal 10:10, 1 Byom 15:28N’amakondeere n’eddoboozi ery’akagombe
Muleete eddoboozi ery’essanyu
mu maaso ga Kabaka, Mukama.
798:7 Zab 24:1; 96:11Ennyanja ewuume, n’okujjula kwayo;
Ensi zonna, n’abo abazituulamu;
898:8 Zab 89:12, Is 55:12Amazzi gakube mu ngalo;
Ensozi ziyimbire wamu olw’essanyu;
9Mu maaso ga Mukama, kubanga ajja okusalira ensi omusango:
Alisalira ensi emisango egy’ensonga,
Aliramula amawanga n’obutuukirivu.