
97
197:1 Zab 93:1; 96:10,11Mukama afuga; ensi esanyuke
Ebizinga bijaguze bwe byenkana obungi.
297:2 Kuv 19:9, Ma 4:11, Zab 18:11; 89:14Ebire n’ekizikiza bimwetooloola:
Obutuukirivu n’omusango bye binyweza entebe ye.
397:3 Zab 21:9, Dan 7:10Omuliro gumukulembera,
Gwokya abalabe be eruuyi n’eruuyi.
497:4 Zab 77:18Enjota ze zaamulisa ensi:
Ensi n’eraba n’ekankana.
597:5 Mi 4:13, Nak 1:5Ensozi z’asaanuuka ng’envumbo awali Mukama,
Awali Mukama w’ensi zonna.
697:6 Zab 50:6, Is 40:5Eggulu libuulira obutuukirivu bwe,
N’amawanga gonna galabye ekitiibwa kye.
797:7 Zab 96:5, Is 42:17, Yer 10:14Bakwatibwe ensonyi bonna abasinza ebifaananyi ebyole,
Abeenyumiriza olw’ebifaananyi:
Mumusinze ye, mmwe bakatonda mwenna.
897:8 Zab 48:11Sayuuni yawulira n’asanyuka,
N’abawala ba Yuda ne bajaguza;
Olw’emisango gyo, ai Mukama.
997:9 Zab 83:18; 95:3Kubanga ggwe, Mukama, oli waggulu nnyo ku nsi zonna:
Ogulumizibwa okusinga ennyo bakatonda bonna.
1097:10 Zab 34:14, Nge 2:8; 8:13, Dan 3:28, Am 5:15, Bik 12:11, Bar 12:9Kale mmwe abaagala Mukama,
mukyawe obubi:
Akuuma emmeeme z’abatukuvu be;
Abawonya mu mukono gw’omubi.
1197:11 Zab 112:4, Nge 4:18Omusana gwasigirwa omutuukirivu,
N’essanyu oyo alina omutima ogw’amazima.
1297:12 Zab 30:4; 32:11Musanyukire Mukama, mmwe abatuukirivu
Era mwebaze erinnya lye ettukuvu.