
96
196:1 Zab 33:3; 98:196:1-13 1 Byom 16:23-33Mumuyimbire Mukama oluyimba oluggya:
Mumuyimbire Mukama, mmwe ensi zonna.
296:2 Is 52:7Mumuyimbire Mukama, mwebaze erinnya lye:
Mwolesenga obulokozi bwe buli lunaku buli lunaku.
3Mubuulirenga ekitiibwa kye mu mawanga,
Eby’amagero bye mu bantu bonna.
496:4 Zab 48:1; 95:3Kubanga Mukama mukulu, era agwana okutenderezebwa ennyo:
Agwana okutiibwanga okusinga bakatonda bonna.
596:5 Lub 1:1, Zab 115:4, Is 42:5, Yer 10:12, Kaab 2:18-20, Bik 19:26Kubanga bakatonda bonna ab’amawanga bye bifaananyi:
Naye Mukama ye yakola eggulu.
6Ekitiibwa n’obukulu biri mu maaso ge:
Amaanyi n’obulungi biri mu watukuvu we.
796:7-9 Zab 22:27; 29:1,2; 114:7Mumuwe Mukama, mmwe ebika eby’amawanga,
Mumuwe Mukama ekitiibwa n’amaanyi.
8Mumuwe Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye:
Muleete ssaddaaka, mujje mu mpya ze.
9Kale mumusinze Mukama mu bulungi obw’obutukuvu.
Mukankane mu maaso ge, mmwe ensi zonna.
1096:10 Zab 9:8; 93:1Mwogerere mu mawanga nti
Mukama afuga:
Era n’ensi enywera n’okuyinza n’eteyinza kusagaasagana:
Alisalira amawanga emisango egy’ensonga.
1196:11 Zab 69:34; 97:1; 98:7Eggulu lisanyuke, era n’ensi ejaguze;
Ennyanja ewuume, n’okujjula kwayo;
1296:12 Is 35:1; 55:12Ennimiro ejaguze, n’ebigirimu byonna;
Emiti gyonna egy’omu kibira ne giryoka giyimba olw’essanyu;
13Mu maaso ga Mukama, kubanga ajja;
Kubanga ajja okusalira ensi emisango:
Alisalira ensi emisango egy’ensonga,
Aliramula amawanga n’amazima ge.