
95
195:1 Zab 66:1; 89:26Mujje, tuyimbire Mukama:
Tuyimbire n’eddoboozi ery’essanyu ejjinja ery’obulokozi bwaffe.
2Tujje mu maaso ge n’okwebaza,
Tumuyimbire n’eddoboozi ery’essanyu ne zabbuli.
395:3 2 Byom 2:5, Zab 135:5Kubanga Mukama ye Katonda omukulu,
Era Kabaka omukulu asinga
bakatonda bonna.
4Enkonko z’ensi ziri mu mukono gwe;
N’entikko z’ensozi nazo zizze.
595:5 Lub 1:9,10, Yon 1:9Ennyanja yiye, era yagikola;
N’emikono gye gye gyabumba olukalu.
695:6 Ma 32:6, 2 Byom 6:13, Yob 35:10, Is 51:13, Dan 6:10, Luk 22:41Mujje, tusinze, tuvuuname;
Tufukamire mu maaso ga Mukama Omutonzi waffe:
795:7 Zab 48:14; 74:195:7-11 Beb 3:7-11Kubanga ye Katonda waffe,
Naffe tuli bantu ba ttale lye, era endiga ez’omu mukono gwe.
Leero, oba nga munaawulira eddoboozi lye,
895:8 Kuv 9:34; 17:2-7, Kubal 20:2-13, 1 Sam 6:6Temukakanyaza mitima gyammwe, nga e Meriba,
Nga ku lunaku olw’e Masa mu ddungu:
995:9 Zab 78:18, 1 Kol 10:9Bajjajja bammwe bwe bankema,
Ne bangeza, ne balaba omulimu gwange.
1095:10 Kubal 14:33,34, Bik 13:18, Beb 3:17Emyaka amakumi ana nanyiikaalira ab’emirembe giri,
Ne njogera nti Be bantu abakyama mu mutima gwabwe,
So tebamanya makubo gange:
1195:11 Ma 1:34,35; 12:9, Beb 3:18; 4:3,5Kyennava ndayira mu busungu bwange,
Nga tebaliyingira mu kiwummulo kyange.