
94
194:1 Ma 32:35, Is 35:4, Bar 12:19Ai Mukama, ggwe Katonda nannyini kuwalana,
Ggwe Katonda nannyini kuwalana, omasizemasize ddala.
294:2 Zab 7:6; 58:11Weeyimuse, ggwe asalira ensi emisango:
Owe ab’amalala ebibagwanira.
394:3 Yob 20:5, Kub 6:10Mukama, ababi balituusa wa,
Ababi balituusa wa okuwangula?
494:4 1 Sam 2:3Boogera ebitaliimu, n’eby’amalala:
Abakozi b’obubi bonna beenyumiriza:
594:5 Is 3:15Bamenyaamenya abantu bo, ai Mukama,
Era babonyaabonya obusika bwo.
694:6 Is 10:2Batta nnamwandu ne munnaggwanga,
Era batta atalina kitaawe.
794:7 Yob 22:13Ne boogera nti Mukama taalabe,
So Katonda wa yakobo taalowooze.
8Mulowooze, mmwe abali ng’ensolo mu bantu:
Nammwe abasirusiru, muligeziwala ddi?
994:9 Kuv 4:11, Nge 20:12Eyateekawo okutu, taliwulira?
Eyabumba eriiso, taliraba?
10Abonereza amawanga, talikangavvula,
Ayigiriza abantu amagezi?
1194:11 1 Kol 3:20Mukama amanyi ebirowoozo by’abantu,
Nga mukka.
1294:12 Yob 5:17, Nge 3:11,12Alina omukisa omuntu gw’obonereza, ai Mukama,
Era gw’oyigiriza ebiva mu mateeka go;
1394:13 Yob 34:29Olyoke omuwummuze aleme
okulaba ebiro eby’ennaku,
Okutuusa obunnya lwe bulisimirwa ababi.
1494:14 Ma 32:9, 1 Sam 12:22, 1 Bassek 6:13, Bar 11:2Kubanga Mukama talisuula bantu be,
So talireka busika bwe.
1594:15 1 Bassek 14:8Kubanga omusango gulidda mu butuukirivu:
Ne bonna abalina emitima egy’amazima balibugoberera.
16Ani anangolokokera ku abo abakola obubi?
Ani anannyimiririra ku bakozi b’ebitali bya butuukirivu?
1794:17 Zab 124:1,2Singa Mukama teyali mubeezi wange,
Emmeeme yange yanditudde mangu awali okusirika.
18Bwe nnayogera nti Ekigere kyange kiseerera,
Okusaasira kwo, ggwe Mukama, ne kumpanirira.
19Mu birowoozo byange ebingi ebiri mu nze
Okusanyusa kwo kumpoomera emmeeme yange.
2094:20 Is 10:1, 2 Kol 6:14Abafuga ababi balissa ekimu naawe,
Abalagira eby’ettima mu mateeka?
2194:21 Nge 17:15, Mat 27:4Bakuŋŋaana okulumba emmeeme y’omutuukirivu,
Ne basala omusango okusinga omusaayi ogutaliiko kabi.
2294:22 Zab 9:9; 14:6; 18:2Naye Mukama yabanga kigo kyange ekiwanvu;
Era Katonda wange lye jjinja lye nneeyuna.
2394:23 Zab 7:16Era abaleeseeko obutali butuukirivu bwabwe bo,
Era alibazikiriza mu bubi bwabwe;
Mukama Katonda waffe alibazikiriza.