
93
193:1 1 Byom 16:31, Zab 65:6; 96:10; 104:1, Is 51:9, Kub 19:6Mukama afuga; ayambadde obukulu:
Mukama ayambadde, yeesibye amaanyi:
Era ensi enywedde n’okuyinza n’eteyinza kusagaasagana.
293:2 Zab 45:6; 90:2Entebe yo yanywera edda n’edda lyonna:
Obeererawo okuva emirembe n’emirembe.
393:3 Zab 98:7,8, Kaab 3:10Amazzi gayimusizza, Ai Mukama,
Amazzi gayimusizza eddoboozi lyago;
Amazzi gayimusa amayengo gaago.
493:4 Zab 65:6,7; 92:8Okusinga amaloboozi ag’amazzi amangi,
Amayengo amanene ag’oku nnyanja,
Mukama ali waggulu asinza amaanyi.
593:5 Zab 19:7; 29:2Bye wategeeza bya mazima ddala:
Obutukuvu busaanira ennyumba yo,
Ai Mukama, emirembe n’emirembe.
All rights reserved – The Bible Society of Uganda