
92
Zabbuli, oluyimba olw’okussabbiiti.
192:1 Lub 14:19,20, Zab 147:1Kirungi okwebazanga Mukama,
N’okuyimba okutenderezanga erinnya lyo, ggwe ali waggulu ennyo:
292:2 Zab 36:5; 119:147,148Okwolesanga ekisa kyo enkya,
N’obwesigwa bwo buli kiro.
392:3 Zab 33:2N’ekivuga ekirina enkoba ekkumi, era n’amadinda:
N’eddoboozi ery’okusinza ery’ennanga.
492:4 Zab 8:6Kubanga ggwe, Mukama, onsanyusizza n’omulimu gwo:
Naajagulizanga emirimu gy’emikono gyo.
592:5 Zab 111:2; 139:17, Bar 11:33, Kub 15:3Emirimu gyo nga mikulu, ai Mukama!
Ebirowoozo byo bya buziba nnyo.
692:6 Zab 94:8Omuntu ali ng’ensolo tamanyi kino,
So nga n’omusirusiru takitegeera:
792:7 Yob 21:7, Zab 94:4, Yer 12:1Ababi bwe baloka ng’omuddo,
Era abakozi b’obubi bonna bwe babeera;
Kyebava beera bazikirizibwe emirembe gyonna:
892:8 Zab 93:4Naye ggwe, ai Mukama, ogulumizibwanga emirembe n’emirembe.
992:9 Zab 68:1Kubanga, laba, abalabe bo, ai Mukama,
Kubanga, laba, abalabe bo, balizikirira;
Abakozi b’obubi bonna balisaasaanyizibwa.
1092:10 1 Sam 2:1, Zab 23:5; 75:10Naye ogulumizizza ejjembe lyange ng’ery’embogo:
Nfukiddwako amafuta amaggya.
1192:11 Zab 54:7Era eriiso lyange lirabye bye njagala nga bituuse ku balabe bange,
Amatu gange gawulidde bye njagala nga bituuse ku abo abakola obubi abangolokokerako.
1292:12 Zab 52:8; 72:7, Kos 14:5,6Omutuukirivu alyera ng’olukindu;
Alikula ng’omuvule mu Lebanooni.
1392:13 Zab 135:2Abasimbirwa mu nnyumba ya Mukama
Balyerera mu mpya za Katonda waffe.
14Baliba nga bakyabala ebibala nga bakaddiye;
Balijjula amazzi, baligejja:
1592:15 Ma 32:4, Zab 58:11, Bar 9:14Balage nga Mukama mutuukirivu;
Oyo lye jjinja lyange, so mu ye temuli butali butuukirivu.