
91
191:1 Zab 32:7; 121:5, Is 25:4; 32:2Atuula mu kifo eky’ekyama eky’oyo ali waggluu ennyo
Ye anaabeeranga wansi w’ekisiikirize eky’Omuyinza w’ebintu byonna.
291:2 Zab 11:1; 14:6; 18:2Naayogeranga ku Mukama nti Oyo kye kiddukiro kyange, era kye kigo kyange:
Katonda wange gwe nneesiga.
391:3 Zab 124:7Kubanga oyo ye anaakulokolanga mu mutego ogw’omuyizzi,
Ne mu kawumpuli omubi.
491:4 Zab 35:2; 57:1; 61:4Anaakubikkangako n’ebiwaawaatiro bye,
Era wansi w’ebyoya bye w’onoddukiranga:
Amazima ge ye ngabo, ge gakuuma.
591:5-7 Yob 5:19-23, Nge 3:25, Is 43:1,2Tootyenga lwa ntiisa ya kiro
Newakubadde akasaale akagenda emisana;
6Olw’olumbe olutambulira mu kizikiza,
Newakubadde olw’okuzikiriza okufaafaaganya mu ttuntu.
7Abantu olukumi baligwira ku lubiriizi lwo,
Era akakumi ku mukono gwo ogwa ddyo;
Tekulikusemberera ggwe.
8Naye olitunula n’amaaso go,
Oliraba empeera y’ababi.
991:9 Zab 71:3; 91:2Kubanga ggwe, ai Mukama, oli kiddukiro kyange!
Omufudde oyo ali waggulu ennyo ekigo kyo w’otuula;
1091:10 Nge 12:21Tewali kabi akalikubaako,
So tewali kibonoobono ekirisemberera eweema yo.
1191:11,12 Kuv 23:20, Zab 34:7, Nge 3:23, Mat 4:6, Beb 1:14Kubanga alikulagiririza bamalayika be,
Bakukuume mu makubo go gonna.
12Balikuwanirira mu mikono gyabwe,
Oleme okwesittala ekigere kyo ku jjinja.
1391:13 Luk 10:19, Bik 28:5Olirinnya ku mpologoma ne ku ssalambwa;
Olisamba empologoma ento n’omusota wansi w’ebigere byo.
1491:14 Zab 9:10Kubanga antaddeko okwagala kwe, kyendiva mmuwonya:
Ndimugulumiza waggulu, kubanga amanyi erinnya lyange.
1591:15 1 Sam 2:30, Yob 12:4, Zab 50:15, Yer 33:3, Zek 13:9, Yok 12:26Alinkaabira, nange ndimuyita;
Naabeeranga wamu naye bw’anaanakuwalanga:
Ndimuwonya, ndimuwa ekitiibwa.
1691:16 1 Bassek 3:14, Zab 21:4; 50:23Ndimuwangaaza nnyo, ndimukkusa obulamu,
Era ndimulaga obulokozi bwange.