
90
EKITABO 4
Okusaba kwa Musa omusajja wa Katonda.
190:1 Zab 71:3, Lub 3:19Mukama, ggwe wali kifo kyaffe eky’okutuulamu
Mu mirembe gyonna.
290:2 Yob 36:26, Nge 8:25Ensozi nga tezinnazaalibwa,
Era nga tonnabumba nsi n’ebintu,
Okuva mu mirembe gyonna okutuusa mu mirembe gyonna, ggwe Katonda.
390:3 Lub 3:19, Mub 12:7Osindika abantu mu kuzikirira;
Era oyogera nti Muddeeyo, mmwe abaana b’abantu.
490:4 2 Peet 3:8Kubanga emyaka olukumi mu maaso go
Giri ng’olwajjo olwayita,
Era ng’ekisisimuka ky’ekiro.
590:5 Yob 20:8Obatwalira ddala nga mukoka; bali ng’otulo:
Enkya bali ng’omuddo ogumera.
690:6 Yob 4:20; 14:2, Yak 1:11Enkya guloka, gumera;
Akawungeezi nga gusaliddwa, era nga guwotose.
7Kubanga obusungu bwo butumalawo,
Era bw’onyiiga ne tweraliikirira.
890:8 Zab 19:12, Yer 16:17, Beb 4:13Otadde obutali butuukirivu bwaffe mu musana gw’amaaso go,
Ebibi byaffe eby’ekyama mu musana gw’amaaso go.
9Kubanga ennaku zaffe zonna ziyita mu busungu bwo;
Emyaka gyaffe giggwaawo ng’ekirowoozo.
10Ennaku z’emyaka gyaffe gye myaka nsanvu,
Era naye amaanyi gaweza emyaka ekinaana;
Naye amalala gaabwe kwe kutegana n’okunakuwala kwereere;
Kubanga gayita mangu, naffe ne tubula.
11Ani amanyi obuyinza obw’obusungu bwo,
N’okunyiiga nga bw’ogwanira okutiibwa?
1290:12 Zab 39:4Otuyigirize tubalenga bwe tutyo ennaku zaffe,
Tulyoke tufune omutima omugezigezi.
1390:13 Ma 32:36, Zab 74:9,10; 135:14Okomewo, ai Mukama; olituusa wa?
Era wejjuse mu bigambo eby’abaddu bo.
1490:14 Zab 85:6Otukkuse enkya n’okusaasira kwo;
Tusanyukenga, tujaguzenga, ennaku zaffe zonna.
15Otusanyuse ng’ennaku bwe ziri ze watubonyaabonyezangamu,
Era ng’emyaka bwe giri gye twalabirangamu obubi.
1690:16 Zab 92:4, Kaab 3:2Omulimu gwo gulabikirenga abaddu bo,
N’ekitiibwa kyo kirabikenga ku baana baabwe.
1790:17 Is 26:1Era n’obulungi bwa Mukama Katonda waffe bubeerenga ku ffe:
Era otunywerezenga emirimu gy’emikono gyaffe:
Weewaawo, emirimu gy’emikono gyaffe oginywezenga.