
9
Ya mukulu w’abayimbi; ey’e Kimusulabbeni. Zabbuli ya Dawudi.
19:1 Zab 26:7Neebazanga Mukama n’omutima gwange gwonna;
Naayolesanga ebikolwa byo eby’ekitalo byonna.
29:2 Zab 7:17Naasanyukanga naajagulizanga mu ggwe:
Naayimbanga okutendereza erinnya lyo, ggwe ali waggulu ennyo.
3Abalabe bange bwe badda ennyuma,
Beesittala ne bazikirira mu maaso go.
49:4 Zab 140:12Kubanga ggwe wayamba ensonga yange n’ebigambo byange;
Watuula ku ntebe, ng’osala omusango ogw’ensonga.
59:5 Ma 9:14Waboggolera amawanga, wazikiriza ababi,
Wasangula erinnya lyabwe emirembe n’emirembe.
6Abalabe baweddewo, baviibwamu emirembe egitaggwaawo;
N’ebibuga bye wamenya.
Era n’ekijjukizo kyabyo kizikiridde.
79:7 Zab 29:10, Kaab 1:12Naye Mukama atuula kabaka emirembe egitaggwaawo:
Ateeseteese entebe ye okusala omusango.
89:8 Zab 58:11; 96:10,13Naye alisala omusango ogw’ensi zonna mu butuukirivu,
Aliwa omusango amawanga mu mazima.
99:9 2 Sam 22:3, Zab 59:16Era Mukama anaabeeranga kigo
ekiwanvu eri abayigganyizibwa,
Ekigo ekiwanvu mu biro eby’ennaku;
109:10 Zab 91:14N’abo abamanyi erinnya lyo baneesiganga ggwe;
Kubanga ggwe, Mukama, tonnabaleka abakunoonya.
119:11 Zab 74:2; 76:2; 107:21Muyimbe okutendereza Mukama, atuula mu Sayuuni:
Mubuulire ebikolwa bye mu bantu.
129:12 Lub 9:5, 1 Bassek 21:17-19, Zab 10:12,13Kubanga oyo avunaana omusaayi abajjukira:
Teyeerabira kukaaba kw’abaavu.
13Onsaasire, ai Mukama;
Laba okubonaabona kwange kwe bankola abankyaye,
Ggwe annyimusa ku miryango egy’olumbe;
149:14 1 Sam 2:1, 2 Bassek 19:21, Zab 13:5; 35:9Ndyoke njolesenga ettendo lyo lyonna:
Mu miryango egy’omuwala wa Sayuuni
Naasanyukiranga obulokozi bwo.
159:15 Zab 7:15; 35:8Amawanga gagudde mu bunnya bwe baasima:
Mu kyambika kye baatega ekigere kyabwe mwe kikwatiddwa.
169:16 Kuv 7:5; 14:4Mukama yeetegeezezza, atuukirizza omusango:
Omubi akwatibwa mu mirimu gy’emikono gye. (Kiggayoni.) Seera
179:17 Yob 8:13, Zab 50:22, Yer 2:32Ababi balidda mu magombe.
Ge mawanga gonna ageerabira Katonda.
189:18 Zab 12:5Kubanga abaavu tebeerabirwenga ennaku zonna,
So essuubi ery’abawombeefu teriibulenga emirembe gyonna.
199:19 Zab 3:7; 10:18Golokoka, ai Mukama; abantu
balemenga okuwangula:
Amawanga gasalirwe omusango mu maaso go.
20Obatiise, ai Mukama:
Amawanga geetegeere nga bantu buntu. (Seera)