
88
Oluyimba, zabbuli ya batabani ba Koola; ya mukulu w’abayimbi; ey’ekimakalasu-Leyanosi. Masukiri ya Kemani Omuzera.
188:1 Zab 22:2; 24:5, Luk 18:7Ai Mukama, Katonda ow’obulokozi bwange,
Naakaabiranga emisana n’ekiro mu maaso go:
2Okusaba kwange kuyingire w’oli;
Otege okutu kwo eri okukaaba kwange:
388:3 Zab 107:18Kubanga emmeeme yange ejjudde ennaku,
N’obulamu bwange busemberera emagombe.
488:4 Zab 28:1Bambalira wamu n’abo abakka mu bunnya;
Nninga omuntu atalina mubeezi:
588:5 Zab 31:12Asuulibwa mu bafu,
Ali ng’abattibwa abagalamira mu ntaana,
B’otojjukira nate;
Era bayawukana n’omukono gwo.
688:6 Zab 143:3; 42:7Ontadde mu bunnya obuli wansi ennyo,
Mu bifo eby’enzikiza, mu buziba.
7Obusungu bwo bunyigiriza nnyo,
Era ombonyabonyezza n’amayengo go gonna. (Seera)
888:8 Yob 19:13; 30:10, Yer 32:2Onjawukanyirizza wala n’abo be mmanyi;
Onfudde ekitama eri abo:
Nsibiddwa, so siyinza kuvaamu.
988:9 Yob 11:13, Zab 6:7Eriiso lyange likulukuse olw’okunakuwala:
Nkukaabira buli lunaku, ai Mukama,
Ntega engalo zange eri ggwe.
1088:10,11 Zab 6:5Oliraga abafu eby’amagero?
Abaafa baligolokoka balikutendereza?
11Ekisa kyo kiribuulirirwa mu magombe?
N’obwesigwa bwo mu kuzikirira?
1288:12 Yob 10:21, Mub 9:5Eby’amagero byo birimanyirwa mu kizikiza?
N’obutuukirivu bwo mu nsi ey’okwerabira?
1388:13 Zab 5:3Naye ggwe, ai Mukama, gwe nkaabira,
Era buli nkya okusaba kwange kunaatuukanga mu maaso go.
1488:14 Yob 13:24Mukama, kiki ekikusuuza
emmeeme yange?
Kiki ekikunkwesa amaaso go?
1588:15,16 Yob 6:4; 9:34Mbonyaabonyezebwa, nfaanana okufa okuva mu buto bwange:
Entiisa zo bwe zimbaako, ne nneeraliikirira nnyo.
16Obusungu bwo obukambwe buntuuseeko;
Entiisa zo zinzingizizza.
1788:17 Zab 118:10Banneetooloola ng’amazzi okuzibya obudde;
Bantaayiza eruuyi n’eruuyi wamu.
1888:18 Yob 19:13,14Abanjagala ne mikwano gyange obaawukanyizza wala nange,
N’abo be mmanyi mu kizikiza.