
87
Zabbuli ya batabani ba Koola; oluyimba.
187:1 Zab 2:6, Is 28:16Emisingi gye giri ku nsozi entukuvu.
287:2 Zab 78:67,68Mukama ayagala emiryango gya Sayuuni
Okusinga ennyumba zonna eza Yakobo.
387:3 Zab 46:4, Is 60:1,2Eby’ekitiibwa bikwogerwako,
Ggwe ekibuga kya Katonda. (Seera)
4Ndyogera ku Lakabu ne Babulooni nga bali mu abo abammanyi:
Laba Firisutiya, ne Ttuulo, ne Esiyoopya;
Oyo yazaalirwa omwo.
587:5 Zab 48:8Weewaawo, kiryogerwa ku Sayuuni nti Gundi ne gundi baazaalirwa omwo;
N’oyo ali waggulu ennyo alikinyweza yennyini.
687:6 Is 4:3, Ez 13:9Mukama alibala, bw’aliwandiika amawanga,
Nti Gundi yazaalirwa omwo. (Seera)
787:7 Is 12:3, Kub 21:6Abayimba era n’abo abazina (balyogera nti)
Ensulo zange zonna ziri mu ggwe.
All rights reserved – The Bible Society of Uganda