
86
Okusaba kwa Dawudi.
186:1 Zab 31:2; 40:17Otege okutu kwo, ai Mukama, onziremu;
Kubanga nze ndi mwavu, sirina bintu.
2Okuume emmeeme yange; kubanga nze ntya Katonda:
Ai ggwe Katonda wange, olokole omuddu wo akwesiga.
386:3 Zab 56:1; 57:1Onsaasire, ai Mukama;
Kubanga nkukoowoola ggwe okuzibya obudde.
486:4 Zab 25:1Osanyuse emmeeme y’omuddu wo;
Kubanga nnyimusa emmeeme
yange eri ggwe, ai Mukama.
586:5 Kubal 14:18, Zab 130:4,8Kubanga ggwe, Mukama, oli mulungi, oyanguwa okusonyiwa,
Era ojjula ekisa eri abo bonna abakukoowoola.
686:6 Zab 55:1Otege okutu, ai Mukama, eri
okusaba kwange;
Owulire eddoboozi ery’okwegayirira kwange.
786:7 Zab 17:6; 77:2Ku lunaku olw’okunakuwala kwange ndikukoowoola;
Kubanga olinziramu.
886:8 Kuv 15:11, Ma 3:24, 1 Sam 2:2, Zab 35:10Tewali afaanana nga ggwe mu bakatonda, ai Mukama;
So tewali bikolwa ebiri ng’ebibyo.
986:9 Zab 66:4, Is 66:23, Kub 15:4Amawanga gonna ge wakola galijja, galisinza mu maaso go, ai Mukama;
Era galigulumiza erinnya lyo.
1086:10 Ma 6:4, Zab 72:18, Is 37:16, 1 Kol 8:4, Bef 4:6Kubanga ggwe mukulu, era okola eby’ekitalo:
Ggwe Katonda wekka.
1186:11 Zab 25:4; 26:3Onjigirizenga ekkubo lyo, ai Mukama; naatambuliranga mu mazima go:
Ogatte wamu omutima gwange gutye erinnya lyo.
12Naakutenderezanga, ai Mukama Katonda wange, n’omutima gwange gwonna;
Era naagulumizanga erinnya lyo
emirembe gyonna.
1386:13 Zab 30:3; 56:13Kubanga okusaasira kwo kungi gye ndi;
Era wawonya emmeeme yange
mu bunnya obuli wansi ennyo.
1486:14 Zab 54:3Ai Katonda, ab’amalala bangolokokeddeko,
N’ekibiina eky’abatemu banoonyezza emmeeme yange,
So tebakutadde ggwe mu maaso gaabwe.
1586:15 Kuv 34:6, Nek 9:17, Zab 103:8; 111:4; 145:8, Yo 2:13, Yon 4:2Naye ggwe, ai Mukama, oli Katonda ajjula okusaasira, ow’ekisa,
Alwawo okusunguwala, alina okusaasira n’amazima amangi.
1686:16 Zab 25:16; 116:16Onkyukire, onsaasire;
Owe omuddu wo amaanyi go,
Olokole omwana w’omuzaana wo.
1786:17 Balam 6:17Ondage akabonero olw’obulungi;
Abankyaye bakalabe bakwatibwe ensonyi.
Kubanga ggwe, ai Mukama, onnyambye, era onsanyusizza.