
85
1Ya mukulu w’abayimbi. Zabbuli ya batabani ba Koola.
85:1 Zab 14:7Mukama, watunuulira ensi yo n’ekisa;
Wazza obusibe bwa Yakobo.
285:2,3 Zab 32:1; 78:38, Yon 3:9Wasonyiwa obutali butuukirivu obw’abantu bo,
Wabikka ku kibi kyabwe kyonna. (Seera)
3Waggyawo obusungu bwo bwonna:
Wakyuka n’oleka ekiruyi kyo ekikambwe.
485:4 Zab 80:3Otukyuse, ai Katonda ow’obulokozi bwaffe.
Era okunyiiga kwo kuggweewo eri ffe.
585:5 Zab 79:5Onootusunguwaliranga ennaku zonna?
Onootuusanga obusungu bwo emirembe gyonna?
685:6 Zab 71:20; 90:14Tolituzuukiza nate,
Abantu bo bakusanyukirenga ggwe?
7Otulage okusaasira kwo, ai Mukama,
Otuwe obulokozi bwo.
885:8 Kaab 2:1, Zek 9:10, 2 Peet 2:21Ka mpulire Katonda Mukama by’anaayogera:
Kubanga anaabuulira abantu be
emirembe, n’abatukuvu be:
Naye baleme okukyama nate mu busirusiru.
985:9 Is 46:13, Zek 2:5Mazima obulokozi bwe buba kumpi abo abamutya;
Ekitiibwa kiryoke kituulenga mu nsi yaffe.
1085:10 Zab 72:3; 89:14, Is 32:17, Mi 7:20Okusaasira n’amazima birabaganye;
Obutuukirivu n’emirembe binywegeraganye.
1185:11 Is 45:8Amazima galose mu ttaka;
N’obutuukirivu butunudde ku nsi nga buyima mu ggulu.
1285:12 Zab 67:6; 84:11, Yak 1:17Weewaawo, Mukama anaagabanga ebirungi;
N’ensi yaffe eneereetanga ekyengera kyayo.
1385:13 Is 58:8Obutuukirivu bunaamukulemberanga;
Era bunaakubiranga ebigere bye ekkubo.