
84
Ya mukulu w’abayimbi; ey’ekigaasi. Zabbuli ya batabani ba Koola.
184:1 Zab 43:3Eweema zo nga nnungi, Ai Mukama ow’eggye.
284:2 Zab 27:4; 42:1,2; 63:1Emmeeme yange yeegomba, era ezirise olw’empya za Mukama;
Omutima gwange n’omubiri gwange bikaabira Katonda omulamu.
384:3 Zab 5:2Weewaawo, enkazaluggya yeerabidde ennyumba,
N’akataayi ekisu mwe kanaabiikiranga obwana bwako,
Bye byoto byo, ai Mukama ow’eggye,
Kabaka wange, era Katonda wange.
484:4 Zab 42:5,11; 65:4Balina omukisa abatuula mu nnyumba yo:
Banaakutenderezanga. (Seera)
5Alina omukisa omuntu amaanyi ge bwe gaba mu ggwe;
Enguudo ezigenda mu Sayuuni nga ziri mu mutima gwe.
684:6 Ez 34:26Nga bayita mu kiwonvu eky’amaziga bakifuula ekifo eky’ensulo;
Weewaawo, ddumbi akibikkako n’omukisa.
784:7 Zab 42:2, Nge 4:18, Is 40:31, 2 Kol 3:18Bava mu maanyi ne baggukira mu maanyi,
Buli muntu mu bo alabika mu maaso ga Katonda mu Sayuuni.
884:8 Zab 59:5Ai Mukama Katonda ow’eggye, wulira okusaba kwange:
Otege okutu, ai Katonda wa Yakobo. (Seera)
984:9 Zab 3:3Tunula, ai Katonda engabo yaffe,
Olabe amaaso g’oyo gwe wafukako amafuta.
10Kubanga olunaku lumu mu mpya zo lusinga olukumi.
Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange
Okusinga okutuula mu weema ez’obubi.
1184:11 Zab 15:2; 34:9,10, Nge 2:7, Is 60:19,20, Mal 4:2, Kub 21:11,23Kubanga Mukama Katonda ye njuba, ye ngabo:
Mukama anaagabanga ekisa n’ekitiibwa:
Tammenga kintu kirungi kyonna abo abeegendereza.
12Ai Mukama ow’eggye,
Alina omukisa omuntu akwesiga ggwe.