
83
Oluyimba, zabbuli ya Asafu.
183:1 Zab 28:1Ai Katonda, tosirika nate.
Toleka kwogera, so tobeererawo, ai Katonda.
283:2 Balam 8:28, Zab 2:1Kubanga, laba, abalabe bo bayoogaana:
N’abo abakukyawa bayimusizza omutwe.
383:3 Nek 4:8, Zab 27:5Basala enkwe ku bantu bo,
Bateesa wamu obubi ku bantu bo abakweke.
483:4 Es 3:6, Zab 74:8, Yer 48:2Boogedde nti Mujje tubazikirize balemenga okuba eggwanga;
Erinnya lya Isiraeri liremenga okujjukirwa nate.
5Kubanga bateesezza wamu n’omwoyo gumu;
Balagaana endagaano ku ggwe:
683:6 Lub 25:12-16, 2 Byom 20:10Eweema za Edomu n’ez’Abaisimaeri;
Mowaabu, n’Abakagale;
783:7 1 Sam 4:1; 15:12Gebali, ne Amoni, ne Amaleki;
Firisutiya awamu n’abo abatuula mu Ttuulo:
883:8 Ma 2:9,19, 2 Bassek 15:19Era n’Obwasuli bwe gasse nabo;
Bayambye abaana ba Lutti. (Seera)
983:9 Kubal 31:7, Balam 4:7,15; 5:21, Is 9:4Obakole nga bwe wakola Midiyaani;
Nga Sisera, nga Yabini, ku mugga Kisoni;
10Abaazikiririra e Endoli;
Ne bafuuka ng’obusa ku ttaka.
1183:11 Balam 7:25; 8:5,21Abakungu baabwe obafaananye
nga Olebu ne Zeebu;
Weewaawo, abalangira baabwe
bonna nga Zeba ne Zalumunna:
1283:12 2 Byom 20:11Abaayogera nti Twetwalire fekka
Ennyumba za Katonda tuzirye.
1383:13 Yob 21:18, Is 17:13, Zab 59:5Ai Katonda wange, obafuule ng’enfuufu ey’akazimu;
Ng’ebisasiro empewo bye zitwala.
1483:14 Ma 32:22, Is 9:18Ng’omuliro ogwokya ekibira,
Era ng’ennimi z’omuliro ezookya ensozi;
1583:15 Yob 9:17Obayigganye bw’otyo ne kibuyaga wo,
Era obatiise n’empewo zo.
1683:16,17 Zab 35:4,26Jjuza amaaso gaabwe okweraliikirira;
Banoonyenga erinnya lyo, ai Mukama.
17Bakwatibwenga ensonyi,
batyenga ennaku zonna;
Weewaawo, beeraliikirirenga bazikirirenga:
1883:18 Kuv 6:3, Zab 59:13; 97:9Balyoke bategeerenga nga ggwe wekka, erinnya lyo YAKUWA,
Oli waggulu nnyo ng’ofuga ensi yonna.