
82
1Zabbuli ya Asafu.
82:1 Yos 22:16,17, Mub 5:8Katonda ayimirira mu kibiina kya Katonda;
Asala emisango mu bakatonda.
282:2 Ma 1:17, Nge 18:5Mulituusa wa okusalanga emisango egitali gya nsonga,
N’okusalirizanga ababi? (Seera)
382:3 Zab 10:18, Yer 22:3Musalirenga emisango omwavu n’oyo atalina kitaawe:
Mugattenga oyo ali mu nnaku n’atalina bintu.
482:4 Yob 29:12, Nge 24:11Muwonyenga omwavu n’oyo eyeetaaga:
Mubalokolenga mu mukono gw’omubi.
582:5 Zab 11:3; 14:4, Nge 2:13Tebamanya so tebategeera;
Batambulatambula mu kizikiza:
Emisingi gyonna egy’ensi gisagaasagana.
682:6 Yok 10:34Nayogera nti Muli bakatonda,
Era mwenna muli baana b’oyo ali waggulu ennyo.
782:7 Yob 21:32, Ez 28:2-10Era naye munaafanga ng’abantu,
Era munaagwanga ng’omu ku balangira.
882:8 Zab 2:8; 12:5, Kub 11:15Golokoka, ai Katonda, osalire ensi omusango:
Kubanga olisikira amawanga gonna.