
81
Ya mukulu w’abayimbi; ey’e Kigaasi. Zabbuli ya Asafu.
181:1 Zab 66:1Muyimbirenga waggulu eri Katonda amaanyi gaffe:
Muleetenga eddoboozi ery’essanyu eri Katonda wa Yakobo.
281:2 Kuv 15:20, Zab 33:2Mwanukulenga oluyimba, muleetenga ekitaasa,
Ennanga ennungi era n’amadinda.
381:3,4 Leev 23:24, Kubal 10:10Mufuuwenga ekkondeere omwezi nga kye gujje guboneke,
Omwezi nga gwa ggabogabo, ku lunaku lwaffe olutukuvu olw’embaga.
4Kubanga eryo lye tteeka eri Isiraeri,
Ekiragiro kya Katonda wa Yakobo.
581:5 Kuv 11:4, Zab 78:5; 114:1Yakiteeka mu Yusufu okuba obujulirwa,
Bwe yabuna ensi y’e Misiri:
Gye nnawulirira olulimi lwe ssaamanya.
681:6 Kuv 1:11N’aggya ekibegabega kye ku mugugu:
Engalo ze ne zisumattulwa mu bibbo.
781:7 Kuv 2:23; 14:10; 19:19, Kubal 20:13Wakoowoola bwe wali mu nnaku, nange ne nkuwonya;
Ne nkuddiramu mu kifo eky’ekyama eky’okubwatuka:
Nakukemera ku mazzi ag’e Meriba. (Seera)
881:8 Zab 50:7Muwulire, mmwe abantu bange, nange naabategeeza:
Ggwe Isiraeri, singa okkiriza okumpulira!
981:9 Kuv 20:3, Is 43:12Temuubenga katonda munnaggwanga mu ggwe;
So toosinzenga katonda munnaggwanga yenna.
1081:10 Kuv 20:2Nze Mukama Katonda wo,
Eyakuggya mu nsi y’e Misiri:
Yasama nnyo akamwa ko, nange naakajjuza.
1181:11 Kuv 32:1, Nge 1:30Naye abantu bange tebaawulira ddoboozi lyange;
So Isiraeri teyanjagala n’akatono.
1281:12 Yer 7:24, Bik 7:42, Bar 1:24Nange ne mbaleka okugoberera obukakanyavu bw’omutima gwabwe,
Batambulirenga mu kuteesa kwabwe bo.
1381:13 Mat 5:29, Is 48:18, Mat 23:37Singa abantu bange bakkiriza okumpulira,
Singa Isiraeri akkiriza okutambulira mu makubo gange!
14Nandiwangudde mangu abalabe baabwe,
Nandikyusizza omukono gwange ku abo abalwana nabo.
1581:15 Zab 18:44Abakyawa Mukama bandimujeemulukukidde:
Naye ekiseera kyabwe kyandibadde kya mirembe gyonna.
1681:16 Ma 32:13,14, Zab 147:14Era yandibaliisizza n’obugimu obw’eŋŋaano:
Era nandikukkusizza n’omubisi gw’enjuki oguva mu jjinja.