
80
Ya mukulu w’abayimbi; ey’ekisosannimu-edusi. Zabbuli ya Asafu.
180:1 Kuv 25:22, 1 Sam 4:4, 2 Sam 6:2, Zab 50:2; 77:20; 99:1Ai Omusumba wa Isiraeri, wulira,
Ggwe aluŋŋamya Yusufu ng’ekisibo;
Ggwe atuula wakati wa bakerubi, yakira ddala.
280:2 Kubal 2:18-24Mu maaso ga Efulayimu ne Benyamini ne Manase, kubiriza amaanyi go,
Ojje otulokole.
380:3 Kubal 6:25, 1 Bassek 18:37, Zab 60:1; 85:4Otukyuse nate, ai Katonda;
Oyase amaaso go, naffe tulirokoka.
480:4 Zab 59:5; 79:5Ai Mukama Katonda ow’eggye,
Olituusa wa okusunguwalira okusaba kw’abantu bo?
580:5 Zab 42:3; 102:9Wabaliisa emmere ey’amaziga,
Era wabawa amaziga amangi okunywa.
680:6 Zab 44:13Otufuula oluyombo eri baliraanwa baffe:
N’abalabe baffe baseka bokka na bokka.
7Otukyuse nate, ai Katonda ow’eggye;
Era oyase amaaso go, naffe tulirokoka.
880:8 Zab 44:2, Is 5:1,7, Yer 2:21, Ez 17:6, Mak 12:1Waggya omuzabbibu mu Misiri:
Wagobamu amawanga, n’ogusimba.
9Wasaawa mu maaso gaagwo,
Ne gusimba nnyo emmizi, ne gujjula ensi.
10Ensozi ne zibikkibwa n’ekisiikirize kyagwo,
N’amatabi gaagwo ne gaba ng’emivule gya Katonda.
1180:11 Zab 72:8Gwaloka amatabi gaagwo okutuusa ku nnyanja
N’ensibuko zaagwo okutuusa ku Mugga.
1280:12 Zab 89:40, Is 5:5Kiki ekyakumenyesa enkomera zaagwo,
Bonna abayita mu kkubo ne bagunogako?
1380:13 Yer 5:6Embizzi eva mu kibira egunyaga,
N’ensolo ez’omu nsiko zigulyako.
1480:14 Is 63:15Okyuke nate, tukwegayiridde, ai Katonda ow’eggye:
Otunuulire wansi ng’oyima mu ggulu, olabe, ojjire omuzabbibu ogwo,
1580:15 Lub 49:22N’ekikolo omukono gwo ogwa ddyo kye gwasimba,
N’ettabi lye weekolera ery’amaanyi.
1680:16 Is 33:12Gwokeddwa omuliro, gutemeddwa ddala:
Bazikirira amaaso go bwe gabanenya.
1780:17 Zab 89:21Omukono gwo gube ku musajja ow’omukono gwo ogwa ddyo,
Ku mwana w’omuntu gwe weekolera ow’amaanyi.
18Naffe tetulidda nnyuma okukuleka:
Otuzuukize ggwe, naffe tunaakaabiranga erinnya lyo.
19Otukyuse, nate, ai Mukama Katonda ow’eggye;
Oyase amaaso go, naffe tulirokoka.