
79
Zabbuli ya Asafu.
179:1 2 Bassek 25:9, Zab 74:2,7, Yer 26:18, Kung 1:10, Mi 3:12Ai Katonda, amawanga gazze mu busika bwo;
Boonoonye yeekaalu yo entukuvu;
Basudde Yerusaalemi entuumo n’entuumo.
279:2 Ma 28:26, Yer 7:33Emirambo gy’abaddu bo bagiwaddeyo okuba emmere y’ennyonyi eza waggulu,
Emibiri gy’abatukuvu bo eri ensolo z’oku nsi.
379:3 Yer 14:16Omusaayi gwabwe bagufuse ng’amazzi okwetooloola Yerusaalemi:
Ne wataba muntu wa kubaziika.
479:4 Zab 44:13Tufuuse ekivume eri baliraanwa baffe,
Okuduulirwa n’okusekererwa eri abo abatwetoolodde.
579:5 Ma 29:20, Zab 13:1, Ez 36:5Ai Mukama, olituusa wa okusunguwala emirembe gyonna?
Obuggya bwo bunaabuubuukanga ng’omuliro?
679:6,7 Zab 14:4, Yer 10:25, Zef 3:8Fuka obusungu bwo ku mawanga agatakumanyi,
Ne ku bwakabaka obutakoowoola linnya lyo.
7Kubanga balidde Yakobo,
Ne bazisa ekifo kye.
879:8 Zab 116:6, Is 49:6, Yer 11:10Tojjukira gye tuli obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe:
Okusaasira kwo okulungi kwanguwe okutukulemberanga:
Kubanga tujeezebwa nnyo.
9Otuyambe, ai Katonda ow’obulokozi bwaffe, olw’ekitiibwa ky’erinnya lyo:
Era otuwonye, onaalize ddala ebibi byaffe, olw’erinnya lyo:
1079:10 Zab 42:3; 94:1Ab’amawanga ekiriba kiboogeza kiki nti Katonda waabwe ali ludda wa?
Eggwanga ly’omusaayi gw’abaddu bo oguyiika
Limanyibwe mu b’amawanga mu maaso gaffe.
1179:11 Zab 102:20Okusinda kw’omusibe kujje mu maaso go;
Ng’obuyinza bwo bwe buli obungi owonye abo abateekerwawo okufa;
1279:12 Leev 26:21,28Era owalane baliraanwa baffe emirundi musanvu mu kifuba kyabwe
Ekivume kye baakuvuma ggwe, ai Mukama.
1379:13 Zab 74:1, Is 43:21Naffe abantu bo era endiga ez’ettale lyo
tunaakwebazanga ennaku zonna:
Tunaayolesanga ettendo lyo okutuusa emirembe gyonna.