
78
Masukiri ya Asafu
178:1 Zab 49:1, Is 51:4Muwulire, mmwe abantu bange, okulagira kwange:
Mutege amatu gammwe eri ebigambo eby’akamwa kange.
278:2 Zab 49:4, Mat 13:35Naayasama akamwa kange mu lugero:
Naayogera ebigambo eby’ekyama eby’edda:
378:3 Zab 44:1Bye twawuliranga, bye twamanyanga,
Era bajjajjaffe bye baatubuuliranga.
478:4 Kuv 12:26,27, Ma 4:9, Yos 4:6,7Tetuubikisenga baana baabwe,
Nga tubuulira emirembe egijja amatendo ga Mukama,
N’amaanyi ge, n’eby’amagero bye bye yakola.
578:5 Zab 147:19Kubanga yanyweza obujulirwa mu Yakobo,
Era yalagira etteeka mu Isiraeri,
Lye yakuutira bajjajjaffe,
Babitegeezenga abaana baabwe:
678:6 Zab 102:18Emirembe egijja gibimanye, be baana abaali bagenda okuzaalibwa;
Abaali bagenda okugolokoka n’okubibuulira abaana baabwe:
778:7 Zab 105:45Balyoke basuubirenga Katonda,
So balemenga okwerabira emirimu gya Katonda,
Naye bakwatenga amateeka ge:
878:8 Kuv 32:9, 2 Bassek 17:14, Yer 5:23So balemenga okuba nga bajjajjaabwe,
Emirembe emikakanyavu, emijeemu;
Emirembe egitalongoosa bulungi omutima gwagyo,
N’omwoyo gwagyo nga tegunywera eri Katonda.
9Abaana ba Efulayimu, nga balina ebyokulwanyisa n’emitego,
Ne bakyuka ennyuma ku lunaku olw’olutalo.
1078:10 2 Bassek 17:15Tebaakwata ndagaano ya Katonda,
Ne bagaana okutambulira mu mateeka ge;
1178:11 Zab 106:13, Is 17:10, Yer 2:32Ne beerabira ebikolwa bye,
N’eby’amagero bye bye yabalaga.
1278:12 Kuv 7:8—12:32Yakolera eby’ekitalo mu maaso ga bajjajjaabwe,
Mu nsi y’e Misiri, mu nnimiro ya Zowaani.
1378:13 Kuv 14:21; 15:8Yayasa mu nnyanja, n’abayisa wakati;
N’ayimiriza amazzi ng’entuumo.
1478:14 Kuv 13:21Era emisana yabakulemberanga n’ekire,
N’ekiro kyonna n’omumuli ogw’omuliro.
15Yayasa amayinja mu ddungu,
N’abanywesa amazzi amangi nga gava mu buziba.
1678:15,16 Kuv 17:6, Kubal 20:11, Zab 105:41, Is 48:21Era yaviisa ensulo mu jjinja,
N’akulukusa amazzi ng’emigga.
1778:17 Ma 9:22, Is 63:10, Beb 3:16Naye ne banyiikira nate okumwonoona,
Okujeemera oyo ali waggulu ennyo mu ddungu.
1878:18 Kuv 17:2, Kubal 11:4, Ma 6:16, Zab 106:14, 1 Kol 10:9Ne bakema Katonda mu mutima gwabwe.
Nga basaba emmere olw’okwegomba kwabwe.
1978:19 Kuv 16:3, Kubal 21:5, Zab 23:5Era naye baayogera obubi ku Katonda;
Baagamba nti Katonda ayinza okuteekateeka emmeeza mu ddungu?
20Laba, yakuba ejjinja amazzi ne gatiiriika,
Emigga ne gikulukuta;
Era ayinza okuwa n’omugaati? Alirabira ennyama abantu be?
2178:21,22 Kubal 11:1, Zab 95:10Mukama kyeyava awulira, n’asunguwala:
Omuliro ne gwaka ku Yakobo,
Era n’obusungu ne bunyooka ku Isiraeri:
22Kubanga tebakkiriza Katonda,
So tebeesiga bulokozi bwe.
2378:23 Lub 7:11, Mal 3:10Naye n’alagira eggulu waggulu,
N’aggulawo enzigi ez’omu ggulu;
2478:24,25 Kuv 16:4, Nek 9:15,20, Yok 6:31, 1 Kol 10:3N’abatonnyesezanga maanu okulya,
N’abawanga emmere ey’omu ggulu.
25Abantu ne balyanga emmere ey’abakulu:
Yabaweerezanga ebyokulya n’abakkusa.
2678:26-29 Kubal 11:18-20,31N’akunsa empewo eziva ebuvanjuba mu ggulu:
Era n’aluŋŋamya n’obuyinza bwe empewo eziva obukiika obwa ddyo.
27Era n’abatonnyeseza ennyama ng’enfuufu,
N’ennyonyi ezibuuka ng’omusenyu ogw’ennyanja:
28N’abigwisa wakati mu lusiisira lwabwe,
Okwetooloola ennyumba zaabwe.
29Awo ne balya, ne bakkuta nnyo;
N’abawa kye baali beegomba.
3078:30,31 Kubal 11:33,34Baali nga tebannayawukana n’okwegomba kwabwe,
Emmere yaabwe yali ng’ekyali mu bumwa bwabwe,
31Obusungu bwa Katonda ne bulinnya ku bo,
Ne bubattamu abasinga obunene,
Ne buzikiriza abavubuka ba Isiraeri.
3278:32 Kubal 14:1-4,11Era naye ebyo byonna bwe byababaako ne boonoona nate,
Ne batakkiriza bya magero bye.
3378:33 Kubal 14:29,35; 26:64,65Kyeyava amalawo ennaku zaabwe okuzifuula obutaliimu,
N’emyaka gyabwe mu kutya.
3478:34 Zab 63:1, Kos 5:15Bwe yabatta, bwe baabuuzabuuza okumunoonya:
Ne bakomawo ne bakeeranga okunoonya Katonda.
3578:35 Ma 32:4,15Ne bajjukira nga Katonda lwe lwazi lwabwe,
Era nga Katonda ali waggulu ennyo ye yabanunula.
3678:36 Is 29:13; 57:11, Ez 33:31Naye baamunyumiriza na kamwa kaabwe,
Ne bamulimbalimba n’olulimi lwabwe.
3778:37 Zab 51:10, Bik 8:21Kubanga omutima gwabwe tegwalongooka gy’ali,
So tebaali beesigwa mu ndagaano ye.
3878:38 Kuv 34:6, Kubal 14:20, Nek 9:17, Zab 86:15Naye ye, kubanga yajjula okusaasira, n’asonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, n’atazikiriza:
Weewaawo, emirundi emingi yabayisaako obusungu bwe,
N’atakubiriza busungu bwe bwonna.
3978:39 Lub 6:3, Yob 7:7, Yak 4:14Naye n’ajjukira nga bo mubiri bubiri;
Empewo eziyita ne zitadda nate.
40Emirundi nga mingi gye baakamujeemera mu ddungu,
Ne bamunakuwaliza mu lukoola!
4178:41 Zab 71:22Ne bakyuka nate ne bakema Katonda,
Ne banyiiza Omutukuvu wa Isiraeri.
4278:42 Balam 8:34Tebajjukira mukono gwe,
Newakubadde olunaku lwe yabanunuliramu eri omulabe.
4378:43-51 Zab 105:27-36Bwe yateeka obubonero bwe mu Misiri,
N’eby’amagero bye mu nnimiro ya Zowaani;78:43 Kuv 7:3; 11:9,10
4478:44 Kuv 7:17-21N’afuula emigga gyabwe omusaayi,
N’enzizi zaabwe ne batayinza kunywa.
4578:45 Kuv 8:2-14,21-24N’atuma mu bo ebitole by’ensowera, ezaabaluma;
N’ebikere, ebyabazikiriza.
4678:46 Kuv 10:12-15Era n’awa obuwuka ekyengera kyabwe,
N’emirimu gyabwe eri enzige.
4778:47 Kuv 9:22-25N’atta emizabbibu gyabwe n’omuzira,
N’emisukomooli gyabwe n’empeke ennene ez’omuzira,
4878:48 Kuv 9:19-21Yawaayo n’ente zaabwe eri omuzira,
N’endiga zaabwe eri enjota ezaaka.
4978:49 Kuv 12:13,23, 2 Sam 24:16Yabakasukako obusungu bwe obukambwe,
N’okunyiiga, n’okunyiikaala, n’okunakuwala,
Ekibiina kya bamalayika abaleeta obubi.
50Yakubira obusungu bwe ekkubo,
Teyasaasira mmeeme zaabwe okufa,
Naye n’awaayo obulamu bwabwe eri olumbe;
5178:51 Kuv 12:29, Zab 105:23,36N’akuba ababereberye bonna abaali mu Misiri,
Abaasinga amaanyi mu weema za Kaamu:
5278:52 Zab 77:20Naye n’aggyamu abantu be ye ng’endiga,
N’abaluŋŋamiza mu ddungu ng’ekisibo.
5378:53 Kuv 14:13,19,20,27,28N’abakulembera mu mirembe bw’ati n’okutya ne batatya:
Naye ennyanja n’esuulira ddala abalabe baabwe.
5478:54 Kuv 15:17, Zab 68:16N’abaleeta ku nsalo ey’awatukuvu we,
Ku lusozi luno omukono gwe ogwa ddyo lwe gwagula.
5578:55 Yos 23:4, Zab 44:2Era n’agobamu amawanga mu maaso gaabwe,
N’agabawa okuba obusika ng’abagerera,
N’atuuza ebika bya Isiraeri mu weema zaago.
5678:56 Balam 2:11,12Naye ne bakema Katonda ali waggulu ennyo ne bamujeemera,
Ne batakwata bye yategeeza;
5778:57 Kos 7:16Naye ne bakyuka ennyuma ne bakuusakuusa nga bajjajjaabwe:
Ne bakyama ng’omutego ogw’obulimba.
5878:58 Leev 26:30, Ma 12:3; 31:29; 32:16, Ez 20:28Kubanga baamusunguwazanga n’ebifo byabwe eby’oku nsozi,
Ne bamukwasanga obuggya n’ebifaananyi byabwe ebyole.
5978:59 Zab 106:40Katonda bwe yawulira bw’atyo, n’asunguwala,
N’atamwa nnyo Isiraeri:
6078:60 Yos 18:1, 1 Sam 4:11, Yer 7:12-14N’afuluka mu weema ey’omu Siiro,
Eweema gye yali ateese mu bantu;
6178:61 1 Sam 4:21N’awaayo amaanyi ge mu busibe,
N’ekitiibwa kye mu mukono gw’omulabe.
6278:62 1 Sam 4:10Era n’agabula abantu be eri ekitala;
N’asunguwalira obusika bwe.
6378:63 Zab 89:46, Yer 7:34Omuliro ne gulya abavubuka baabwe;
N’abawala baabwe ne bataba na luyimba lwa kufumbirwa.
6478:64 1 Sam 4:11, Yob 27:15Bakabona baabwe ne bafa ekitala;
Ne bannamwandu baabwe ne batakuba biwoobe.
6578:65 Zab 73:20, Is 42:13Mukama n’alyoka azuukuka ng’azuukuka mu tulo,
Ng’omuzira ayogerera waggulu ng’anywedde omwenge.
66N’akuba abalabe be ne baddayo ennyuma:
N’abakwasa ensonyi ezitaggwaawo.
67Era n’agaana eweema ya Yusufu,
N’atalonda kika kya Efulayimu;
6878:68 Zab 87:2Naye n’alonda ekika kya Yuda,
Olusozi Sayuuni lwe yayagala.
6978:69 1 Bassek 6:1-14N’azimba awatukuvu we okufaanana ng’ensozi,
Ng’ensi gye yanyweza emirembe gyonna.
7078:70 1 Sam 16:11-13Era n’alonda Dawudi omuddu we,
N’amuggya mu bisibo by’endiga:
7178:71 2 Sam 5:2; 7:8, Mi 5:2-4Mu kugoberera endiga eziyonsa mwe yamuggya,
Okulundanga Yakobo be bantu be, ne Isiraeri bwe busika bwe.
7278:72 1 Bassek 9:4, Zab 101:2Awo n’abalundanga mu butuukirivu obw’omutima gwe;
N’abaluŋŋamyanga n’amagezi g’emikono gye.