
77
Ya mukulu w’abayimbi; ng’engeri bw’eri eya Yedusuni. Zabbuli ya Asafu.
177:1 Zab 3:4Naakabiranga Katonda n’eddoboozi lyange;
Eri Katonda n’eddoboozi lyange, naye anampuliranga.
277:2 Zab 50:15; 86:7; 143:6, Is 26:9Ku lunaku olw’okunakuwala kwange nanoonya Mukama;
Omukono gwange ne gugololebwa ekiro ne gutaddirira;
Emmeeme yange n’egaana okusanyusibwa.
377:3 Zab 43:5; 61:2; 142:3; 143:4Njijukira Katonda, ne nneeraliikirira:
Neemulugunya, omwoyo gwange ne guzirika. (Seera)
4Okwata ku maaso gange nga gatunula:
Ntegana bwe nti n’okuyinza ne ssiyinza kwogera.
577:5 Ma 32:7, Zab 143:5, Is 51:9Ndowoozezza ennaku ez’edda,
Emyaka egy’ebiro eby’edda.
677:6 Zab 4:4; 42:8Njijukira oluyimba lwange ekiro:
Ne nteesa ebigambo n’omutima gwange nzekka;
N’omwoyo gwange gwanoonyeza ddala.
777:7 Zab 44:9Mukama anaasuuliranga ddala emirembe gyonna?
Era anaaba nga takyalina kisa nate?
877:8 Yer 15:18, Bar 9:6Okusaasira kwe kugendedde ddala emirembe gyonna?
Kye yasuubiza nga kifudde emirembe n’emirembe?
977:9 Is 49:15, Kaab 3:2Katonda yeerabidde okuba n’ekisa?
Asibye okusaasira kwe okulungi mu busungu? (Seera)
1077:10 Yer 10:19Nange ne njogera nti Obwo bwe bunafu bwange;
Naye najjukiranga emyaka egy’omukono ogwa ddyo gw’oyo ali waggulu ennyo.
1177:11 Zab 105:5Naayogeranga ku bikolwa bya Mukama;
Kubanga najjukiranga eby’ekitalo byo eby’edda.
12Era naalowoozanga omulimu gwo gwonna,
Era naafumiitirizanga ebikolwa byo.
1377:13 Zab 35:10Ekkubo lyo, ai Katonda, liri mu watukuvu:
Katonda omukulu, ali nga Katonda, ye ani?
1477:14 Zab 72:18; 106:8Ggwe Katonda akola eby’amagero:
Wamanyisa amaanyi go mu mawanga.
1577:15 Kuv 6:6, Ma 9:29Wanunula abantu bo n’omukono gwo,
Abaana ba Yakobo ne Yusufu. (Seera)
1677:16 Kuv 14:21, Yos 3:15,16, Zab 114:3, Kaab 3:10Amazzi gaakulaba, ai Katonda;
Amazzi gaakulaba, ne gatya:
Era n’obuziba ne bukankana.
1777:17 Zab 18:14Ebire ne bitonnya amazzi;
Eggulu ne lireeta eddoboozi:
Era n’obusaale bwo ne bubuna.
1877:18 Zab 97:4; 104:7Eddoboozi ery’okubwatuka kwo ne liba mu kikuŋŋunta;
Okumyansa ne kumulisa ebintu byonna:
Ensi n’ekankana n’eyuuguuma.
1977:19 Kaab 3:15Ekkubo lyo lyali mu nnyanja.
N’empenda zo zaali mu mazzi amangi.
N’ebigere byo tebyamanyika.
2077:20 Kuv 13:21, Is 63:11,12Waluŋŋamyanga abantu bo ng’endiga,
Mu mukono gwa Musa ne Alooni.