
76
Ya mukulu w’abayimbi; ey’ebintu eby’engoye. Zabbuli ya Asafu, oluyimba.
1Mu Yuda Katonda amanyibwa:
Erinnya lye kkulu mu Isiraeri.
276:2 Lub 14:18, Zab 9:11; 27:5Era mu Salemi eweema ye mweri,
N’ekifo kye ky’atuulamu mu Sayuuni.
376:3 Zab 46:9, Ez 39:9Eyo gye yamenyera obusaale obw’omutego,
Engabo, n’ekitala, n’olutalo. (Seera)
4Oli wa kitiibwa, osinga, okuva ku nsozi ez’omunyago.
576:5 Zab 13:3, Yer 51:39, Nak 3:18Ab’emitima emizira banyagiddwa, beebase mu tulo twabwe;
So mu bantu ab’amaanyi temuli abalabye emikono gyabwe.
676:6 Kuv 15:1Ggwe onenyezza, ggwe Katonda wa Yakobo,
Eggaali era n’embalaasi n’ebyebasibwa otulo otw’okufa.
776:7 Yob 41:10, Zab 130:3, Nak 1:6Ggwe, ggwe ogwanira okutiibwa:
Era ani ayinza okuyimirira mu maaso go ng’omaze okusunguwala?
876:8 2 Byom 20:29,30, Kaab 2:20Wawuliza omusango nga guvudde mu ggulu;
Ensi n’etya, n’esirika,
976:9 Zab 9:7,8Katonda bwe yagolokoka okusala omusango,
Okulokola abawombeefu bonna abali mu nsi. (Seera)
1076:10 Kuv 9:16Mazima obusungu bw’abantu bulikutendereza:
Obusungu obulisigalawo olibwesiba.
1176:11 Zab 50:14; 68:29; 89:7, Mub 5:4, Is 8:13Mweyame obweyamo, musasule Mukama Katonda wammwe:
Bonna abamwetoolodde baleetere ebirabo oyo agwanira okutiibwa.
1276:12 Zab 47:2Alizikiriza omwoyo gw’abalangira:
Ye w’entiisa eri bakabaka b’ensi.