
75
Ya mukulu w’abayimbi; ey’ekyalutasutesi. Zabbuli ya Asafu, oluyimba
175:1 Zab 145:18Tukwebaza, ai Katonda;
Twebaza kubanga erinnya lyo liri kumpi:
Abantu boogera ku bikolwa byo eby’ekitalo.
275:2 Zab 102:13, Dan 8:19, Kaab 2:3Bwe ndiraba ebiro ebyateekebwawo,
Ndisala emisango egy’ensonga.
375:3 1 Sam 2:8, Is 24:9Ensi n’abantu bonna abagituulamu biweddewo:
Nze nsimbye empagi zaayo. (Seera)
475:4,5 Zab 94:4, Zek 1:21Nagamba ab’ekyejo nti Temugiranga kyejo:
N’ababi nti Temuyimusanga jjembe:
5Temuyimusanga waggulu jjembe lyammwe
Temwogeranga n’ensingo enkakanyavu.
675:6 Zab 3:3Kubanga okugulumizibwa tekuva buvanjuba,
Newakubadde ebugwanjuba, newakubadde obukiika obwa ddyo.
775:7 1 Sam 2:7, Zab 50:6, Dan 2:21, Luk 1:52Naye Katonda ye mulamuzi:
Atoowaza ono, n’oli amugulumiza.
875:8 Yob 21:20, Zab 73:10, Yer 25:15, Kub 14:10Kubanga mu mukono gwa Mukama ekikompe mwekiri, n’omwenge gwamu guliko ejjovu;
Kijjudde ogutabuddwamu, n’akifuka;
Mazima ebbonda lyagwo ababi bonna ab’ensi balirikutamira, balirinywa.
9Naye nze naabuuliranga emirembe gyonna,
Naayimbanga okutendereza Katonda wa Yakobo.
1075:10 1 Sam 2:1, Zab 89:17, Yer 48:25Era n’amayembe gonna ag’ababi naagazikirizanga;
Naye amayembe g’abatuukirivu ganaagulumizibwanga.