
74
Masukiri ya Asafu
174:1 Ma 29:20, Zab 44:9; 95:7; 100:3, Yer 23:1, Ez 34:31Ai Katonda, kiki ekyatusuuza ennaku zonna?
Kiki ekinyoosa obusungu bwo eri endiga ez’ettale lyo?
274:2 Kuv 15:16, Zab 9:11, Is 63:9,17Ojjukire ekibiina kyo kye wagula edda,
Kye wanunula okuba ekika eky’obusika bwo;
N’olusozi Sayuuni, lwe watuulangamu.
3Oyimuse ebigere byo ogende mu bifulukwa ebitavaawo,
Obubi bwonna omulabe bwe yakola mu watukuvu.
474:4 Kung 2:7Abalabe bo bawulugumye wakati mu kibiina kyo;
Basimbye ebendera zaabwe okuba obubonero.
574:5 Yer 46:22Bafaananye ng’abantu abayimusa
Embazzi okutema ekisaka eky’omu kibira.
674:6 1 Bassek 6:18,29-35Ne kaakano bamenyaamenya emirimu gyawo gyonna emyole
N’embazzi n’ennyondo.
774:7 2 Bassek 25:9, Zab 79:1Bookezza omuliro awatukuvu wo;
Banyoomye ennyumba ey’erinnya lyo ne bagisuula wansi.
8Boogedde mu mitima gyabwe nti Tubazikiririze ddala bonna bonna:
Bookerezza ddala amakuŋŋaaniro gonna aga Katonda mu nsi.
974:9 1 Sam 3:1, Kung 2:9, Mi 3:6, Mat 16:4Tetukyalaba bubonero bwaffe;
Tewakyali nnabbi n’omu;
So temuli n’omu mu ffe ategeera ebyo gye birituusa okubaawo.
10Ai Katonda, omulabe alituusa wa okuvuma?
Akukyawa alivvoola erinnya lyo emirembe gyonna?
1174:11 Kung 2:3Kiki ekikuddiriza omukono, omukono gwo ogwa ddyo?
Oguggye mu kifuba kyo obazikirize.
1274:12 Zab 44:4Naye Katonda ye Kabaka wange edda n’edda lyonna,
Aleeta obulokozi wakati mu nsi.
1374:13 Kuv 14:21, Is 51:9Wayawula ennyanja n’amaanyi go:
Wamenya emitwe gy’ensolo mu mazzi.
1474:14 Yob 41:1, Is 27:1, Zab 3:3Wamenyaamenya emitwe gya lukwata,
Wamuwa okuba emmere y’abo abatuula mu ddungu.
1574:15 Kuv 17:5,6, Kubal 20:11, Yos 4:23, Zab 105:41, Is 48:21; 51:10Wasalamu ensulo n’omukka:
Wakaza emigga eminene.
1674:16 Lub 1:14-16, Lub 8:22, Ma 32:8, Bik 17:26Emisana gigyo, era n’ekiro kikyo:
Wakola omusana n’enjuba.
17Wateekawo ensalo zonna ez’ensi:
Wakola ekyeya ne ddumbi.
1874:18 Zab 89:50Ojjukire kino ng’abalabe bavumye, ai Mukama,
Era ng’eggwanga essirusiru liboggoledde erinnya lyo.
19Nkwegayiridde, towaayo emmeeme y’ejjiba lyo eri ensolo:
Teweerabira bulamu obw’abaavu bo ennaku zonna.
2074:20 Lub 17:7, Leev 26:44,45, Zab 106:45, Yer 33:21Ojjukire endagaano:
Kubanga ebifo eby’enzikiza eby’ensi bijjudde ennyumba ez’ettima.
2174:21 Zab 6:10; 9:9Ajoogebwa alemenga okudda ng’akwatiddwa ensonyi, nkwegayiridde:
Abaavu n’abanafu batenderezenga erinnya lyo.
2274:22 1 Sam 24:15Golokoka, ai Katonda, weewolereze ensonga yo:
Ojjukire omusirusiru bw’azibya obudde okukuvuma.
2374:23 Zab 65:7Teweerabira ddoboozi lya balabe bo:
Oluyoogaano lw’abo abakugolokokerako lulinnya bulijjo.