
73
EKITABO 3
Zabbuli ya Asafu
173:1 Zab 24:4Mazima Katonda wa kisa eri Isiraeri,
Eri abo abalina emitima emirongoofu.
2Naye nze, ebigere byange byali kumpi n’okugwa;
Okutambula kwange kwabulako katono kuseerera.
373:3 Yob 21:7, Zab 37:1Kubanga ab’amalala bankwasa obuggya,
Bwe nnalaba ababi bwe balina omukisa.
4Kubanga bafa tebalumwangako:
Naye amaanyi gaabwe ganywera.
5Tebalaba nnaku ng’abantu abalala;
So tebabonyaabonyezebwa ng’abantu abalala.
673:6 Zab 109:18Amalala kyegava gabeera ng’omukuufu ogwetooloola obulago bwabwe;
Ettima libabikka ng’ekyambalo.
773:7 Zab 17:10Amaaso gaabwe gabakanuse olw’obugevvu:
Balina ebingi okukira omutima bye guyinza okwagala.
8Baduula ne boogera eby’okujooga mu bubi:
Boogera ebikulu.
9Omumwa gwabwe bagutadde mu ggulu,
N’olulili lwabwe lutambulatambula mu nsi.
10Abantu be kyebava bakomawo wano:
N’amazzi ag’omu kikompe ekijjudde ne bagamalirawo ddala.
1173:11 Yob 22:13, Zab 10:11Era boogera nti Katonda amanya atya?
Era okumanya kuli mu oyo ali waggulu ennyo?
12Laba, abo be babi;
Era beeyongera mu bugagga nga balina emirembe ennaku zonna.
1373:13 Yob 21:15; 34:9, Zab 26:6, Mal 3:14Mazima nnongooserezza bwereere omutima gwange,
Ne nnaaba mu ngalo zange n’obutayonoona;
1473:14 Kub 3:19Kubanga nabonyaabonyezebwa okuzibya obudde,
Ne nkangavvulwa buli nkya.
15Singa nayogera nti Ka njogere bwe ntyo;
Laba, nandikkusizza emirembe gy’abaana bo.
16Bwe nnalowooza bwe nnyinza okutegeera ekyo,
Kyanteganya ne kinnema;
1773:17 Zab 37:38Okutuusa lwe nnagenda mu watukuvu wa Katonda,
Ne ndowooza ebibatuukako ku nkomerero.
1873:18 Zab 35:6Mazima obateeka mu bifo eby’obuseerezi:
Obasuulira ddala ne bazikirira.
1973:19 Yob 18:11Nga bafuuse ekifulukwa mu kaseera akatono!
Entiisa zibamalirawo ddala.
2073:20 Yob 20:8, Zab 78:65Ng’ekirooto bwe kiri aloose ng’azuukuse;
Era bw’otyo naawe, ai Mukama, bw’olizuukuka, olinyooma ekifaananyi kyabwe.
21Kubanga omutima gwange gwannuma,
N’emmeeme yange yanfumita;
2273:22 Yob 18:3Bwe nnali ng’ensolo bwe ntyo ne ssitegeera;
Nali nsolo mu maaso go.
23Naye ndi wamu naawe ennaku zonna:
Onkutte omukono gwange ogwa ddyo.
2473:24 Zab 32:8; 49:15, Yok 14:3Ononnuŋŋamyanga n’amagezi go,
Era oluvannyuma olinzikiriza okuyingira mu kitiibwa.
2573:25 Zab 16:2, Is 26:8, Baf 3:8Ani gwe nnina mu ggulu wabula ggwe?
So tewali mu nsi gwe njagala wabula ggwe.
2673:26 Zab 16:5; 84:2Omubiri gwange n’omutima gwange bimpwako:
Naye Katonda ge maanyi g’omutima gwange n’omugabo gwange emirembe gyonna.
2773:27 Kuv 34:15, Zab 106:39, Yak 4:4Kubanga, laba, abakuli ewala balizikirira:
Wabafaafaaganya bonna abagenda okwenda ne bakuleka.
2873:28 Zab 14:6; 118:17, Beb 10:22, Yak 4:8Naye kirungi nze nsemberere Katonda:
Mukama Katonda mmufudde ekiddukiro kyange,
Ndyoke njogerenga ku bikolwa byo byonna.