
72
Zabbuli ya Sulemaani.
172:1 1 Byom 22:12Owenga kabaka emisango gyo, ai Katonda
Era owenga obutuukirivu bwo omwana wa kabaka.
272:2 Is 11:4; 32:1Anaasaliranga abantu bo emisango egy’obutuukirivu,
N’abaavu bo egy’ensonga.
372:3 Is 32:17Ensozi zinaaleeteranga abantu emirembe,
N’obusozi, mu butuukirivu.
4Anaasaliranga omusango abaavu ab’omu bantu,
Anaalokolanga abaana b’abo abatalina bintu,
Era anaamenyaamenyanga omujoozi.
572:5 Zab 89:36,37, Yer 31:35,36Banaakutyanga ng’enjuba ekyaliwo,
Era ng’omwezi gukyayaka, emirembe gyonna.
672:6 Ma 32:2, 2 Sam 23:4, Am 7:1Alikka ng’enkuba bw’etonnya ku ssubi erisaliddwa:
Ng’empandaggirize ezifukirira ensi.
772:7 Zab 92:12, Is 2:4, Bef 2:14Mu nnaku ze abatuukirivu banaalabanga omukisa,
Era wanaabangawo emirembe emingi, okutuusa omwezi lwe guliggwaawo.
872:8 Kuv 23:31, Zab 2:8, Zek 9:10Era anaafuganga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja,
Era okuva ku mugga okutuuka ku nkomerero z’ensi.
972:9 Zab 22:29, Is 49:23Abatuula mu ddungu balimufukaamirira;
N’abalabe be balikomba enfuufu.
1072:10 1 Bassek 10:1,22, Zab 68:29, Is 43:3; 60:9Bakabaka b’e Talusiisi n’ab’oku Bizinga banaaleetanga ebirabo:
Bakabaka b’e Syeba n’ab’e Seeba banaawangayo ebitone.
1172:11 Is 49:7Weewaawo, bakabaka bonna banaavuunamiranga mu maaso ge:
Amawanga gonna ganaamuweerezanga.
12Kubanga anaawonyanga omunafu bw’anaakaabanga:
N’omwavu atalina mubeezi.
13Anaasaasiranga omwavu n’omunafu,
N’emmeeme z’abanafu anaazirokolanga.
1472:14 2 Bassek 1:13, Zab 115:15Anaanunulanga emmeeme zaabwe
mu kujoogebwa n’ettima:
N’omusaayi gwabwe gunaabanga gwa muwendo mungi mu maaso ge:
1572:15 1 Bassek 10:10Era banaabanga balamu; naye anaaweebwanga ku zaabu ey’e Syeba:
Era abantu banaamusabiranga bulijjo;
Banaamwebazanga okuzibya obudde.
1672:16 Yob 5:25Wanaabangawo emmere enkalu nnyingi mu nsi ku ntikko y’ensozi;
Ebibala byayo binaayuuganga nga Lebanooni:
N’ab’ekibuga banaameranga ng’omuddo ogw’oku nsi.
1772:17 Lub 12:3, 2 Sam 23:4, Am 7:1Erinnya lye linaabeereranga emirembe gyonna;
Erinnya lye linaalwangawo ng’enjuba:
N’abantu banaalabanga omukisa mu ye;
Amawanga gonna ganaamuyitanga wa Mukisa.
1872:18 Zab 41:13; 86:10Yeebazibwenga Mukama Katonda, Katonda wa Isiraeri,
Akola eby’amagero yekka:
1972:19 Kubal 14:21, Nek 9:5N’erinnya lye ery’ekitiibwa lyebazibwenga emirembe gyonna;
Era ensi zonna zijjuzibwenga ekitiibwa kye.
Amiina, era Amiina.
20Okusaba kwa Dawudi mutabani wa Yese kuwedde.