
71
171:1-3 Zab 31:1-3Ggwe, ai Mukama, ggwe nneesiga:
Nnemenga okukwatibwa ensonyi ennaku zonna.
2Ondokole mu butuukirivu bwo, omponye:
Ontegere okutu, ondokole.
371:3 Ma 33:27, Zab 90:1; 91:9Obeerenga gye ndi olwazi olw’okutuulangako, we nnaayinzanga okweyuna bulijjo:
Walagira okundokola;
Kubanga ggwe oli lwazi lwange era ekigo kyange.
471:4 Zab 140:1,4Omponye, ai Katonda wange, mu mukono gw’omubi,
Mu mukono gw’omuntu atali mutuukirivu, omukambwe.
571:5 Yer 17:7, Bar 15:13, 1 Tim 1:1Kubanga ggwe oli ssuubi lyange, ai Mukama Katonda:
Ggwe gwe nneesiga okuva mu buto bwange.
671:6 Zab 22:9,10, Is 46:3Ggwe wampanirira okuva mu lubuto:
Ggwe wanziya mu byenda bya mmange:
Ggwe gwe nnaatenderezanga ennaku zonna.
771:7 Is 8:18, 1 Kol 4:9Nninga ekitalo eri abantu abangi;
Naye ggwe oli kiddukiro kyange eky’amaanyi.
871:8 Zab 35:28Akamwa kange kanajjulanga ettendo lyo,
N’ekitiibwa kyo okuzibya obudde.
9Tonsuula mu biro eby’obukadde;
Tondekanga amaanyi gange bwe galimbula.
1071:10,11 2 Sam 17:1,2, Zab 56:6Kubanga abalabe bange banjogerako;
N’abo abateega emmeeme yange bateesa wamu,
11Nga boogera nti Katonda amulese:
Mumugoberere mumukwate; kubanga tewali anaamuwonya.
1271:12 Zab 10:1; 40:13Ai Katonda, tombeera wala:
Ai Katonda wange, yanguwa okunnyamba.
1371:13 Zab 35:4Bakwatibwe ensonyi bazikirire abakyawa emmeeme yange;
Baswazibwe banyoomebwe abaagala okunkola obubi.
14Naye naasuubiranga ennaku zonna,
Era naayongeranga okukutenderezanga bulijjo.
1571:15 Zab 40:5Akamwa kange kanaatenderanga obutuukirivu bwo,
N’obulokozi bwo okuzibya obudde;
Kubanga omuwendo gwabyo sigumanyi.
16Najjanga n’ebikolwa eby’amaanyi ebya Mukama Katonda:
Naayogeranga ku butuukirivu bwo, ku bubwo bwokka.
17Ai Katonda, ggwe wanjigirizanga okuva mu buto bwange;
Era okutuusa leero naabuuliranga ebikolwa byo eby’ekitalo.
1871:18 Is 46:4Weewaawo, bwe ndiba nkaddiye
era nga mmeze envi, ai Katonda, tondekanga;
Okutuusa lwe ndibuulira amaanyi go emirembe egijja okubaawo,
N’obuyinza bwo buli muntu agenda okujja.
1971:19 1 Sam 12:24, Zab 35:10; 36:6; 126:2, Luk 1:49Era n’obutuukirivu bwo, ai Katonda, bugulumivu nnyo:
Ggwe eyakola ebikulu,
Ai Katonda, afaanana nga ggwe ani?
2071:20 Zab 60:3; 85:6, Kos 6:2Ggwe eyatulaga ebibonoobono ebingi ebizibu,
Olituzuukiza nate, Era olitulinnyisa nate okuva mu bya wansi by’ensi.
21Oyongerenga ggwe obukulu bwange,
Okyukenga nate onsanyuse.
2271:22 2 Bassek 19:22, Zab 33:2; 78:41, Is 60:9Era naakutenderezanga n’endere,
Amazima go ge nnaatenderezanga, ai Katonda wange:
Ggwe gwe nnaatenderezanga nga nnyimba mu nnanga,
Ai ggwe Omutukuvu wa Isiraeri.
2371:23 Zab 25:22Emimwa gyange ginaasanyukanga nnyo bwe nnaayimbanga okukutendereza;
N’emmeeme yange gye wanunula.
2471:24 Zab 71:8Era n’olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo okuzibya obudde:
Kubanga bakwatiddwa ensonyi, baswazibbwa abaagala okunkola obubi.