
70
Ya mukulu w’abayimbi. Zabbuli ya Dawudi; ey’okujjukiza.
170:1 Zab 38:2270:1-5 Zab 40:13-17Oyanguwe, ai Katonda, okundokola;
Oyanguwe okunnyamba, ai Mukama.
270:2 Zab 35:4Bakwatibwe ensonyi baswale
Abanoonya emmeeme yange:
Bazzibwe ennyuma bajeezebwe
Abasanyukira okufiirwa kwange.
3Bazzibwe ennyuma olw’ensonyi zaabwe
Aboogera nti Nyenya, nyenya.
470:4 Zab 35:27Bonna abakunoonya bakusanyukirenga bajaguzenga;
N’abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti
Katonda agulumizibwenga.
570:5 Zab 86:1; 141:1Naye nze ndi mwavu, sirina kintu;
Oyanguwe okujja gye ndi, ai Katonda:
Ggwe oli mubeezi wange era omulokozi wange;
Ai Mukama, tolwawo.
All rights reserved – The Bible Society of Uganda