
7
Si gayooni ya Dawudi, gye yayimbira Mukama, olw’ebigambo bya Kuusi Omubenyamini.
1Ai Mukama, Katonda wange, neesiga ggwe:
Ondokole eri abo bonna abangoba, omponye:
27:2 Zab 50:22Aleme okutaagula emmeeme yange ng’empologoma,
Okugitaagulataagula, nga tewali anamponya.
37:3 1 Sam 26:18Ai Mukama, Katonda wange, oba nga nakola bwe ntyo;
Oba nga obutali butuukirivu buli mu mikono gyange;
47:4 1 Sam 24:7; 26:9Oba nga namuwalana obubi eyali n’emirembe gye ndi;
(Nedda, naye nawonya eyali omulabe wange obwereere:)
5Ankyawa ayigganye emmeeme yange, agituukeko:
Anninnyirire obulamu bwange wansi mu ttaka,
Asse ekitiibwa kyange mu nfuufu. (Seera)
67:6 Yob 8:6, Zab 35:23; 94:2, Is 33:10Golokoka, ai Mukama, mu busungu bwo,
Weesimbe ku bukambwe obw’abalabe bange:
Era onzuukukire; walagira omusango.
7Era ekkuŋŋaaniro ery’amawanga likwetooloole:
Okomewo waggulu okubafuga.
87:8 Zab 26:1; 35:24Mukama aweereza omusango amawanga:
Osale omusango gwange, ai Mukama, olw’obutuukirivu bwange n’amazima gange agali mu nze.
97:9 Zab 26:2, Yer 11:20, Kub 2:23Singa obubi obw’ababi buweddewo, naye abatuukirivu ggwe obanyweze:
Kubanga Katonda ow’obutuukirivu ageza emitima n’emmeeme.
10Engabo yange eri ne Katonda,
Alokola abalina omutima ogw’amazima.
117:11 Yob 8:3, Nak 1:2Katonda ye musazi w’emisango omutuukirivu,
Era ye Katonda alina obusungu buli lunaku.
12Omuntu bw’atakyuka, aliwagala ekitala kye;
Aleeze omutego gwe, aguteeseteese.
137:13 Zab 18:14Era amuteekeddeteekedde ebintu ebitta;
Emisaale gye agiteekako omuliro.
147:14 Yob 15:35, Is 59:4Laba, alina olubuto olw’obubi;
Weewaawo, eggwako lye lye ttima, era azadde obulimba.
157:15 Zab 57:6, Nge 26:27, Mub 10:8Yakola obunnya, yabusima,
Era agudde mu lusalosalo lwe yakola.
16Ettima lye liriddira ku mutwe gwe ye,
N’ekyejo kye kirituuka ku bwezinge bwe.
177:17 Zab 9:2 7:17 1 Bassek 2:32, Es 9:25, Zab 94:23, Nge 5:22Neebazanga Mukama olw’obutuukirivu bwe:
Naayimbanga okutendereza erinnya lya Mukama ali waggulu ennyo.