
69
Ya mukulu w’abayimbi; ey’ekisosannimu. Zabbuli ya Dawudi.
169:1 Zab 32Ndikola, ai Katonda;
Kubanga amazzi gayingidde ne gatuuka ku mmeeme yange.
269:2 Zab 40:2; 124:4Ntubira mu bitosi ebiwanvu awatali kuyimirira:
Ntuuse mu buziba amazzi amangi we gampitirako.
369:3 Zab 6:6; 119:123, Is 38:14Okukaaba kwange kunkooyesezza; obulago bwange bukaze:
Amaaso gange ganzibye nga
nnindirira Katonda wange.
469:4 Zab 38:19; 40:12, Yok 15:25Abankyayira obwereere basinga enviiri ez’okumutwe gwange obungi:
Abaagala okunzikiriza, kubanga be balabe bange awatali nsonga, ba maanyi:
Ne ndyoka nziza kye saabaggyaako.
5Ai Katonda, ggwe omanyi obusirusiru bwange:
N’okwonoona kwange tekukisibwa ggwe.
6Abakulindirira ggwe balemenga okukwatibwa ensonyi ku lwange, ai Mukama Katonda ow’eggye:
Abakunoonya ggwe balemenga okuswazibwa ku lwange, ai Katonda wa Isiraeri.
769:7 Yer 15:15Kubanga banvuma okunnanga ggwe;
Ensonyi zibisse amaaso gange.
869:8 Yob 19:13, Is 53:3, Yok 1:11Nfuuse munnaggwanga eri baganda bange,
Era atali mumanyi eri abaana ba mmange.
969:9 Zab 89:41,50; 119:139, Yok 2:17, Bar 15:3Kubanga obuggya obw’ennyumba yo bundidde;
N’ebivume by’abo abakuvuma ggwe binguddeko.
1069:10,11 Yob 17:6, Zab 35:13Bwe nnakaaba amaziga, emmeeme yange n’esiiba enjala,
Ekyo kye kyanvumya.
11Bwe nnayambala ebibukutu,
Ne mbafuukira eŋŋombo.
1269:12 Luus 4:1, Yob 30:9, Kung 3:14Abatuula mu mulyango banjogerako,
Era ndi luyimba lwa batamiivu.
1369:13 Is 49:8Naye nze, okusaba kwange kuli eri ggwe, ai Mukama, mu kiseera eky’okukkiririzaamu:
Ai Katonda, mu kusaasira kwo okungi,
Onziremu mu mazima ag’obulokozi bwo.
1469:14 Zab 69:1,2; 144:7Onnyinyulule mu bitosi, nneme okutubira:
Ndokoke eri abo abankyawa ne mu mazzi ag’eddubi.
15Amazzi amangi galeme okumpangula,
Newakubadde obunnya buleme okunzibira akamwa kaabwo.
1669:16 Zab 63:3; 106:45Onziremu, ai Mukama; kubanga ekisa kyo kirungi:
Ng’okusaasira kwo bwe kuli okungi, onkyukire.
1769:17 Zab 27:9; 102:2So tokisa amaaso go omuddu wo;
Kubanga ndi mu nnaku; oyanguwe okunziramu.
18Osemberere emmeeme yange, oginunule:
Ompe eddembe olw’abalabe bange.
1969:19 Is 22:6, Beb 12:2Ggwe omanyi bwe nvumibwa, bwe nkwatibwa ensonyi, bwe nnyoomebwa:
Abalabe bange bonna bali mu maaso go.
2069:20 Is 63:5, Yer 15:5Okuvumibwa kumenye omutima gwange; era njijudde ennaku:
Nnoonyezza anansaasira, naye tewabadde n’omu:
Era abanansanyusa, naye ne siraba.
2169:21 Mat 27:34,48, Mak 15:36, Luk 23:36, Yok 19:26Era bampa omususa okuba emmere yange;
Era bwe nnalumibwa ennyonta ne bannywesa omwenge omukaatuufu.
2269:22,23 Bar 11:9,1069:22-28 Zab 35:4-8; 109:6-15Emmeeza yaabwe eri mu maaso gaabwe ebeerenga ekyambika gye bali;
Era bwe baba mu mirembe, gifuukenga omutego.
2369:23 2 Bassek 6:18, Is 6:10, Dan 5:6Amaaso gaabwe gabenga mu kizikiza, baleme okulaba;
Okankanyenga ebiwato byabwe ennaku zonna.
24Obafukengako ekiruyi kyo,
N’obusungu bwo obukambwe bubatuukengako.
2569:25 Bik 1:20Ennyumba yaabwe erekebwenga,
So omuntu yenna alemenga okubeera mu weema zaabwe.
2669:26 Yob 19:21,22, Is 53:4Kubanga baayigganya oyo gw’okubye;
Era boogera ku nnaku zaabo b’ofumise.
2769:27 Nek 4:5Oyongerenga obubi ku bubi bwabwe:
So balemenga okuyingira mu butuukirivu bwo.
2869:28 Kuv 32:32, Is 4:3, Ez 13:9, Luk 10:20, Baf 4:3, Beb 12:23, Kub 3:5; 13:8Basangulibwenga okuva mu kitabo ky’obulamu,
So balemenga okuwandiikibwa awamu n’abatuukirivu.
2969:29 Zab 20:1Naye nze ndi mwavu, munaku:
Obulokozi bwo, ai Katonda, bungulumize waggulu.
3069:30 Luk 1:46Naatenderezanga erinnya lya Katonda n’oluyimba,
Naamugulumizanga n’okwebaza.
3169:31 Zab 50:13,14Era ebyo binaasanyusanga Mukama okusinga ente,
Ente erina amayembe n’ebinuulo.
3269:32 Zab 22:26Abawombeefu bakirabye ne basanyuka:
Mmwe abanoonya Katonda, omutima gwammwe gube omulamu.
3369:33 Zab 68:6Kubanga Mukama awulira abaavu,
So tanyooma basibe be.
3469:34 Zab 96:11Eggulu n’ensi bimutenderezenga,
Ennyanja ne byonna ebigitambuliramu.
3569:35 Is 44:26Kubanga Katonda alirokola Sayuuni, era alizimba ebibuga bya Yuda;
Nabo balituula omwo, ne bagirya.
3669:36 Is 65:9Era n’ezzadde ly’abaddu be baligisikira;
N’abo abaagala erinnya lye balituula omwo.