
67
Ya mukulu w’abayimbi; ey’ebintu eby’engoye. Zabbuli, oluyimba.
167:1 Kubal 6:25, Zab 4:6Katonda atusaasirenga, atuwenga omukisa,
Atwakizenga amaaso ge; (Seera)
267:2 Luk 2:30-32, Bik 18:25,26, Tit 2:11Ekkubo lyo limanyibwenga mu nsi,
Obulamu bwo obulokola bumanyibwenga mu mawanga gonna.
3Abantu bakutenderezenga, ai Katonda;
Abantu bonna bakutenderezenga.
467:4 Zab 9:8Kale, amawanga gasanyukenga gayimbenga olw’essanyu:
Kubanga olisalira abantu emisango egy’ensonga,
Era olifugira amawanga mu nsi. (Seera)
5Abantu bakutenderezenga, ai Katonda;
Abantu bonna bakutenderezenga,
667:6 Leev 26:4, Zab 85:12, Ez 34:27Ensi ereese ekyengera kyayo:
Katonda, ye Katonda waffe, anaatuwanga omukisa.
767:7 Zab 22:27Katonda anaatuwanga omukisa;
N’enkomerero zonna ez’ensi zinaamutyanga.