
66
Ya mukulu w’abayimbi. Oluyimba. Zabbuli.
166:1 Zab 98:4Leeta eddoboozi ery’essanyu eri Katonda, ensi yonna:
266:2 Is 42:12Yimbira waggulu ekitiibwa eky’erinnya lye:
Gulumiza ettendo lye libe n’ekitiibwa.
366:3 Zab 18:44; 65:5Gamba Katonda nti Emirimu gyo nga gya ntiisa!
Olw’obuyinza bwo obungi abalabe bo balikujeemukira.
4Ensi yonna erikusinza,
Erikuyimbira ggwe;
Baliyimbira erinnya lyo. (Seera)
566:5 Zab 46:8Mujje mulabe emirimu gya Katonda;
Ye w’entiisa mu by’akola eri abaana b’abantu.
666:6 Kuv 14:21, Yos 3:17; 4:23, Is 63:12Ennyanja yagifuula olukalu:
Baayita mu mugga n’ebigere:
Awo we twamusanyukirira.
7Afuga n’amaanyi ge emirembe gyonna;
Amaaso ge gatunuulira amawanga:
Abajeemu balemenga okwegulumiza. (Seera)
8Kale, mmwe amawanga, mumwebazenga Katonda waffe,
Muwulize eddoboozi erimutendereza:
966:9 Zab 121:3Akwatirira emmeeme yaffe obutafa,
Era ataganya bigere byaffe okusagaasagana.
1066:10 Yob 23:10, Zek 13:9Kubanga ggwe, ai Katonda, watugeza:
Watukema nga bwe bakema effeeza.
1166:11 Kung 1:13, Ez 12:13Watuyingiza mu kitimba;
Wateeka omugugu omuzito ku biwato byaffe;
1266:12 Is 43:2; 51:23Weebagaza abantu okulinnya ku mitwe gyaffe;
Twayita mu muliro ne mu mazzi;
Naye watuggyamu n’otuyingiza mu kifo eky’obugagga.
1366:13 Zab 50:14Naayingira mu nnyumba yo n’ebiweebwayo ebyokebwa,
Naakusasula obweyamo bwange,
1466:14 Zab 18:6Emimwa gyange bwe gyayogera,
N’akamwa kange bwe kaayatula, bwe nnalaba ennaku.
15Naakuwa ebyokwokya ebya ssava,
N’ebyokwoteza eby’endiga eza seddume;
Naawaayo ente n’embuzi. (Seera)
16Mujje muwulire, mwenna abatya Katonda,
Nange ne mbuulira bye yakolera emmeeme yange.
17Namukoowoola n’akamwa kange,
Era yatenderezebwa n’olulimi lwange.
1866:18 Nge 28:9, Is 1:15; 59:2, Yok 9:31Bwe mba ndowooza obutali butuukirivu mu mutima gwange,
Mukama taawulire:
1966:19 Zab 116:1,2Naye mazima Katonda awulidde;
Alowoozezza eddoboozi ery’okusaba kwange.
20Katonda yeebazibwe,
Atagobye kusaba kwange, so tannyimye kusaasira kwe.