
65
1Ya mukulu w’abayimbi. Zabbuli. Oluyimba lwa Dawudi.
65:1 Zab 50:14Ettendo likulindirira, ai Katonda, mu Sayuuni:
Era ggwe gwe banaatuukiririzanga obweyamo.
265:2 2 Bassek 19:20, Zab 86:9, Is 66:23Ai ggwe awulira okusaba,
Bonna abalina omubiri balijja gy’oli.
365:3 Zab 38:4; 79:9, Is 6:7Ebitali bya butuukirivu binsinze:
Okwonoona kwaffe olikunaaliza ddala.
465:4 Zab 33:12; 84:4Alina omukisa oyo gw’olonda, era gw’osembeza gy’oli.
Abeerenga mu mpya zo:
Tunakkusibwanga obulungi obw’ennyumba yo,
Awatukuvu mu yeekaalu yo.
565:5 Ma 10:21, 2 Sam 7:23, Zab 22:27N’ebigambo eby’entiisa olituddamu mu butuukirivu,
Ai Katonda ow’obulokozi bwaffe;
Ggwe enkomerero zonna ez’ensi gwe zeesiga,
N’abo abali ewala ku nnyanja:
665:6 Zab 93:1Oyo yanyweza ensozi n’amaanyi ge:
Nga yeesiba obuyinza:
765:7 Zab 89:9; 107:29, Is 17:12,13, Mak 4:39Asirisa okuwuuma kw’ennyanja,
Okuwuuma kw’amayengo gaayo,
N’okuyoogaana kw’amawanga.
8Era n’abo abatuula ku nkomerero z’ensi batya olw’obubonero bwo:
Ggwe osanyusa emiryango gy’enkya n’egy’akawungeezi.
965:9 Leev 26:4, Zab 46:4; 68:9; 147:14Okyalira ensi, n’ogifukirira,
Ogigaggawaza nnyo;
Omugga gwa Katonda gujjudde amazzi:
Obalabira eŋŋaano, ng’omaze okulongoosa ensi bw’otyo.
1065:10 Yob 5:10 Ofukirira ensalosalo zaayo amazzi amangi;
Olongoosa ebibibi byayo:
Ogigonza n’oluwandaggirize;
Okuwa omukisa okumera kwayo.
1165:11 Zab 104:13Oteeka engule ku mwaka, bwe bulungi bwo;
N’amakubo go gatonnyesa obugimu.
1265:12 Yob 38:26,27, Yo 2:22Gatonnyesa mu malundiro ag’omu ddungu:
N’obusozi bwesiba essanyu.
1365:13 Zab 98:8, Is 30:23; 44:23Amalundiro gambala ebisibo;
Era n’ebiwonvu bibikkiddwa eŋŋaano:
Byogerera waggulu olw’essanyu, era biyimba.