
64
Ya mukulu w’abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
1Owulirenga eddoboozi lyange, ai Katonda, mu kwemulugunya kwange:
Okuumenga obulamu bwange nnemenga okutya omulabe.
2Onkweke eri abakozi b’obubi abateesa mu kyama;
N’eri okuyoogaana kw’abo abakola ebitali bya butuukirivu:
364:3 Zab 57:4, Ma 10:21Abawagadde olulimi lwabwe ng’ekitala,
Abateebye obusaale bwabwe bye bigambo eby’obukambwe:
464:4 Zab 11:2Balasize oyo eyatuukirira mu bifo eby’ekyama:
Baamulasa nga talaba, ne batatya.
564:5 Yob 22:13, Zab 140:5, Ez 13:22Bagumyagana emyoyo mu kuteesa obubi;
Bateesa okutega emitego mu kyama;
Boogera nti Anaagiraba ani?
6Banoonya ebitali bya butuukirivu; boogera nti Tumaze okunoonyeza ddala nga tufuba:
N’okulowooza okw’omunda okwa buli muntu, n’omutima gwabwe, biri ng’obuziba.
7Naye Katonda alibalasa;
Balifumitibwa n’akasaale nga tebalowooza.
864:8 Nge 12:13; 18:7, Yer 48:27Bwe batyo bwe baneesittazibwanga, olulimi lwabwe bennyini nga lubagwisa:
Bonna abanaabalabanga banaanyeenyanga emitwe gyabwe.
964:9 Yer 50:28; 51:10Era abantu bonna banaatyanga;
Ne batendera omulimu gwa Katonda,
Ne balowooza n’amagezi bye yakola.
1064:10 Zab 32:11Omutuukirivu anaasanyukiranga Mukama, era anaamwesiganga;
Era bonna abalina emitima egy’amazima baneenyumirizanga.