
63
Zabbuli ya Dawudi, bwe yali mu ddungu lya Yuda.
163:1 Zab 84:2; 143:6, Is 26:9; 32:2Ai Katonda, ggwe oli Katonda wange; naakeeranga okukunoonya:
Emmeeme yange erumwa ennyonta eri ggwe, omubiri gwange gwegomba ggwe,
Mu nsi enkalu ekooyesa, omutali mazzi.
263:2 Zab 78:61Bwe ntyo bwe nnakutunuuliranga mu watukuvu,
Okulaba obuyinza bwo n’ekitiibwa kyo.
3Kubanga ekisa kyo kiwooma okusinga obulamu;
Emimwa gyange ginaakutenderezanga.
463:4 Zab 28:2; 104:33Bwe ntyo bwe nnaakwebazanga nga nkyali mulamu:
Naayimusanga emikono gyange mu linnya lyo.
563:5 Zab 36:8Emmeeme yange enekkusibwanga ng’obusomyo n’amasavu;
N’akamwa kange kanaakutenderezanga n’emimwa egisanyuka;
663:6 Zab 42:8; 119:148Bwe nnaakujjuukiriranga ku kitanda kyange,
Bwe nnaakulowoolezanga mu bisisimuka eby’ekiro.
763:7 Zab 17:8Kubanga wabeera mubeezi wange,
Era mu kisiikirize eky’ebiwaawaatiro byo mwe nnaasanyukiranga.
863:8 Kubal 14:24, Zab 41:12Emmeeme yange efuga okukugoberera:
Omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira.
963:9 Zab 55:15, Ez 31:14, Bef 4:9Naye abo abanoonya emmeeme yange okugizikiriza,
Baligenda wansi w’ettaka.
10Baliweebwayo eri amaanyi ag’ekitala:
Balibeera mugabo gwa bibe.
1163:11 Ma 6:13, Yob 5:16, Zab 107:42, Is 65:16Naye kabaka alisanyukira Katonda:
Buli amulayira ye alyenyumiriza;
Kubanga akamwa k’abo aboogera eby’obulimba kalizibibwa.