
62
Ya mukulu w’abayimbi; ng’engeri bw’eri eya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi.
162:1 Zab 33:20Emmeeme yange erindirira Katonda yekka:
Oyo obulokozi bwange mwe buva.
262:2 Zab 9:9; 18:2Ye yekka lye jjinja lyange era bwe bulokozi bwange:
Kye kigo kyange ekiwanvu; sirisagaasagana nnyo.
362:3 Is 30:13Mulituusa wa okulumba omuntu,
Okumutta, mmwe mwenna,
Ng’ekisenge ekyewunzise, ng’olukomera oluyuuguuma?
462:4 Zab 28:3Kino kyokka kye bateesa okumujeeza mu bukulu bwe;
Basanyukira eby’obulimba:
Boogera eby’omukisa n’akamwa kaabwe, naye bakolima munda. (Seera)
5Emmeeme yange, lindiriranga Katonda yekka;
Kubanga oyo okusuubira kwange mwe kuva.
6Ye yekka lye jjinja lyange era bwe bulokozi bwange:
Oyo kye kigo kyange ekiwanvu: sirisagaasagana.
7Awali Katonda we wali obulokozi bwange n’ekitiibwa kyange:
Ejjinja ery’amaanyi gange n’ekiddukiro kyange biri mu Katonda.
862:8 1 Sam 1:15, Zab 37:3; 42:4Mumwesige ye mu biro byonna, mmwe abantu;
Mufuke omutima gwammwe mu maaso ge:
Katonda kye kiddukiro gye tuli. (Seera)
962:9 Zab 39:5; 116:11Mazima abantu abatali ba kitiibwa gwe mukka, n’abo ab’ekitiibwa ekingi bwe bulimba:
Bwe baliteekebwa mu kigera, baliyimuka;
Bombiriri omukka gubasinga okuzitowa.
1062:10 Nge 1:10-15,19, Luk 12:15Temwesiganga kujooga,
Temugobereranga ebitaliimu mu kunyaga:
Obugagga bwe buneeyongeranga, temubussangako mwoyo.
1162:11 Yob 33:14, Kub 19:1Katonda yayogera omulundi gumu,
Mpulidde bwe ntyo emirundi ebiri;
Nga Katonda ye nannyini buyinza:
1262:12 Yob 34:11, Zab 103:8, Yer 17:10, Dan 9:9, 1 Peet 1:17Era ggwe, ai Mukama, olina okusaasira:
Kubanga osasula buli muntu ng’omulimu gwe bwe guli.