
61
Ya mukulu w’abayimbi; ey’ekintu eky’engoye. Zabbuli ya Dawudi.
161:1 Zab 55:1,2; 142:6Owulire okukaaba kwange, ai Katonda;
Olowooze okusaba kwange.
261:2 Zab 18:2; 77:3Nga nnyima ku nkomerero z’ensi naakukoowoolanga, omutima gwange bwe gunaazirikanga:
Onnuŋŋamye eri ejjinja erinsinga obugulumivu.
361:3 Zab 14:6, Nge 18:10Kubanga wali kiddukiro gye ndi,
Ekigo eky’amaanyi eri omulabe.
461:4 Zab 17:8; 23:6Naatuulanga mu weema yo emirembe gyonna:
Neeyunanga ekisiikirize eky’ebiwaawaatiro byo. (Seera)
5Kubanga ggwe, ai Katonda, owulidde obweyamo bwange:
Ompadde obusika bw’abo abaagala erinnya lyo.
661:6 Zab 21:4Olyongera ku nnaku ez’obulamu bwa kabaka:
Emyaka gye giriba ng’emirembe emingi.
761:7 Zab 40:11Alibeerera mu maaso ga Katonda ennaku zonna:
Kale teekateeka ekisa n’amazima, biryoke bimuwonye.
861:8 Zab 50:14Ne ndyoka nnyimba okutendereza erinnya lyo ennaku zonna;
Ntuukirize buli lunaku obweyamo bwange.