
60
Ya mukulu w’abayimbi; ey’ekisusani-edusi: Mikutamu ya Dawudi, ey’okuyigiriza: bwe yawakana ne Alamu-nakalayimu ne Alamu-zoba, Yowaabu n’akomawo, n’atta ku Edomu kakumi mu enkumi bbiri mu Kiwonvu eky’Omunnyo.
160:1 Zab 44:9Ai Katonda, otusudde, otumenyeemenye;
Wasunguwala; otukomyewo, tukwegayiridde.
2Wakankanya ensi; wagyasa:
Ozibe enjatika zaayo; kubanga eyuuga.
360:3 Yob 21:20, Zab 71:20, Is 51:17Abantu bo obalaze ebigambo ebizibu:
Otunywesezza omwenge ogw’okutagatta.
460:4 Zab 20:5, Is 11:10,12Owadde ebendera abo abakutya,
Eyolesebwe olw’amazima. (Seera)
560:5 Lub 33:17, Zab 89:35Muganzi wo alyoke awonyezebwe,
Lokola n’omukono gwo ogwa ddyo, otuddemu.
6Katonda yayogera mu butukuvu bwe; nti Ndijaguza:
Ndisala mu Sekemu, era ndigabaagaba ekiwonvu ekya Sukkosi.
760:7 Lub 49:10, Kubal 32:1, Ma 33:17Gireyaadi wange, era Manase wange;
Efulayimu naye yakuuma omutwe gwange;
Yuda gwe muggo gwange ogw’obwakabaka.
860:8,9 2 Sam 8:1,2,14Mowaabu kye kinaabirwamu kyange;
Edomu ndimukasukira engatto yange:
Ggwe Firisutiya, yogerera waggulu ku lwange.
9Ani alinnyingiza mu kibuga eky’amaanyi?
Ani eyandeeta mu Edomu?
10Totusudde, ai Katonda?
So totabaala, ai Katonda, n’eggye lyaffe.
1160:11 Zab 146:3Otuyambe eri omulabe:
Kubanga obuyambi bw’abantu tebuliimu.
1260:12 Zab 44:5; 118:15,16, Is 63:3Katonda ye anaatukozanga eby’obuzira:
Kubanga oyo ye anaalinnyiriranga ku balabe baffe.