
6
Ya mukulu w’abayimbi: ey’ebintu eby’engoye eby’ekiseminisi. Zabbuli ya Dawudi.
16:1 Zab 38:1, Beb 12:5,6Ai Mukama, tonnenya mu busungu bwo,
So tombuulirira mu kiruyi kyo ekibuubuuka.
26:2 Zab 41:4, Kos 6:1Onsaasire, ai Mukama; kubanga mpotokedde ddala:
Ai Mukama, omponye; kubanga amagumba gange geeraliikiridde.
36:3 Yok 12:27, Yob 8:4, Zab 35:23; 94:2, Is 33:10Era n’emmeeme yange yeeraliikiridde nnyo:
Naawe, ai Mukama, olituusa wa?
4Komawo, ai Mukama, ondokole emmeeme yange:
Omponye olw’ekisa kyo.
56:5 Zab 30:9; 88:10-12; 115:17, Is 38:18Kubanga tewali akujjuukirira mu kufa:
Ani alikwebaliza mu magombe?
66:6 Zab 69:3Okusinda kwange kunkooyezza;
Buli kiro nkulukusa ekiriri kyange;
Ekitanda kyange nkitobya n’amaziga.
76:7 Zab 31:9; 88:9Eriiso lyange likulukuse olw’okunakuwala;
Likaddiye olw’abalabe bange bonna.
86:8 Mat 7:23; 25:41Muveewo we ndi, mwenna abakola ebitali bituukirivu;
Kubanga Mukama awulidde eddoboozi ly’okukaaba kwange.
96:9 Zab 31:22, Yob 8:3, Nak 1:2Mukama awulidde okwegayirira kwange;
Mukama anakkirizanga okusaba kwange.
106:10 Zab 40:14Abalabe bange bonna baliswazibwa, balyeraliikirira nnyo:
Balidda ennyuma, baliswazibwa mangu.