
58
Ya mukulu w’abayimbi: ey’ekyalutasukesi. Zabbuli ya Dawudi: Mikutamu.
1Okwogera mwogera eby’obutuukirivu nga musirika?
Musala omusango ogw’amazima, mmwe abaana ba bantu?
2Naye mu mitima gyammwe mukola eby’obubi;
Ettima ery’emikono gyammwe gwe musango gwe musala mu nsi.
358:3 Zab 51:5, Is 48:8Ababi bakyama okuva mu lubuto:
Bwe bazaalibwa, amangu ago ne beekooloobya, nga boogera eby’obulimba.
458:4 Ma 32:33, Zab 140:3Obusagwa bwabwe buli ng’obusagwa obw’omusota:
Bali nga ssalambwa eritawulira erizibikira amatu gaalyo;
558:5 Yer 8:17Eritawulira ddoboozi lya balozi,
Newakubadde nga baloga n’amagezi mangi gatya.
658:6 Yob 4:10, Zab 3:7Ai Katonda, omenye amannyo gaabwe mu bumwa bwabwe:
Omenyere ddala amasongezo g’empologoma ento, ai Mukama.
758:7 Zab 112:10Basaanuuke ng’amazzi agakulukuta amangu:
Bw’ateeba n’obusaale bwe, babe nga bazikirizibwa.
858:8 Yob 3:16Babe ng’ekkovu erisaanuuka eriggwaawo:
Era ng’omwana omukazi gw’ataasa, atalabanga ku musana.
958:9 Zab 118:12, Nge 10:25Entamu zammwe nga tezinnabuguma n’amaggwa,
Aligaggirawo ddala n’embuyaga, amabisi n’ago agaaka gonna.
1058:10 Ma 32:43e, Yob 22:19, Zab 68:23Omutuukirivu alisanyuka, bw’aliraba okuwalana okwo
Alinaaba ebigere bye mu musaayi gw’ababi.
1158:11 Lub 18:25, Zab 9:8; 67:4, Mub 12:14, Is 3:10Abantu ne balyoka boogera nti Mazima waliwo empeera omutuukirivu gy’aliweebwa:
Mazima waliwo Katonda asala omusango mu nsi.