
57
Ya mukulu w’abayimbi; ey’ekyalutasukesi. Zabbuli ya Dawudi: Mikutamu: bwe yadduka Sawulo, mu mpuku.
157:1 Zab 17:8; 91:4, Is 26:20Onsaasire, ai Katonda, onsaasire;
Kubanga emmeeme yange yeeyuna ggwe:
Weewaawo, mu kisiikirize eky’ebiwaawaatiro byo mwe nneeyunanga,
Okutuusa ebibonoobono ebyo lwe biriggwaawo.
257:2 Zab 138:8Ndikoowoola Katonda ali waggulu ennyo;
Katonda ankolera byonna.
357:3 Zab 18:16; 40:11; 43:3; 56:1Alituma ng’ayima mu ggulu, n’andokola,
Oyo ayagala okummira bw’anvuma; (Seera)
Katonda alituma okusaasira kwe n’amazima ge.
457:4 Zab 64:3, Nge 30:14Emmeeme yange eri mu mpologoma;
Ngalamidde mu abo abaaka n’omuliro,
Be baana b’abantu, amannyo gaabwe ge mafumu n’obusaale,
N’olulimi lwabwe kye kitala eky’obwogi.
557:5 Zab 108:5Bakugulumize, ai Katonda, okusinga eggulu;
Ekitiibwa kyo kibeere ku nsi zonna.
657:6 Yob 18:8, Zab 7:15Bateekeddeteekedde akatimba ebigere byange;
Emmeeme yange ekutamye:
Bansimidde obunnya mu kkubo lyange;
Babuguddemu wakati bo bennyini. (Seera)
757:7-11 Zab 108:1-557:7 Zab 112:7Omutima gwange gunywedde, ai Katonda, omutima gwange gunywedde:
Ndiyimba, weewaawo, ndiyimba eby’okutendereza.
857:8 Balam 5:12, 1 Byom 15:16, Zab 16:9Zuukuka, ggwe ekitiibwa kyange; zuukuka, entongooli n’ennanga:
Nze nzekka naazuukuka enkya mu matulutulu.
9Ndikwebaliza ggwe, ai Mukama, mu bantu:
Ndiyimba eby’okukutendereza ggwe mu mawanga.
1057:10 Zab 36:5Kubanga ekisa kyo kingi, kituuka mu ggulu,
N’amazima go gatuuka mu bbanga.
11Bakugulumize, ai Katonda, okusinga eggulu;
Ekitiibwa kyo kibeere ku nsi zonna.