
56
Ya mukulu w’abayimbi; ey’ekiyonaseremu-lekokimu. Zabbuli ya Dawudi: Mikutamu: Abafirisuuti bwe baamukwatira mu Gaasi.
156:1 Zab 124:3, Nge 1:12Onsaasire, ai Katonda; kubanga abantu baagala okummira nze:
Bazibya obudde nga balwana nga banjooga.
2Abalabe bange baagala okummira
obudde okuziba:
Kubanga abalwana nange n’amalala bangi.
356:3 1 Sam 30:6, 2 Byom 20:3Buli lwe nnaatyanga,
Neesiganga ggwe.
456:4 Zab 118:6Mu Katonda ndyebaza ekigambo kye:
Katonda gwe nneesize, siritya;
Ab’omubiri bayinza kunkola ki?
5Bakyusa ebigambo byange okuzibya obudde:
Ebirowoozo byabwe byonna bimbaako olw’obubi.
656:6 Zab 59:3; 71:10Beekuŋŋaanya, beekweka,
Bakebera ebisinde byange,
Nga bwe baateega emmeeme yange.
7Baliwona olw’obutali butuukirivu?
Mu busungu suula amawanga, ai Katonda.
856:8 2 Bassek 20:5, Mal 3:16Ggwe obala okutambulatambula kwange:
Oteeke amaziga gange mu kasumbi ko;
Tegawandiikibwa mu kitabo kyo?
956:9 Zab 102:2; 118:6, Bar 8:31Abalabe bange ne balyoka badda ennyuma ku lunaku lwe ndikaabiriramu:
Kino kye mmanyi, nga Katonda ali ku lwange
10Mu Katonda nditendereza ekigambo kye:
Mu Mukama nditendereza ekigambo kye.
11Katonda gwe nneesize, siritya;
Abantu bayinza okunkola ki?
1256:12 Zab 50:14Ebirayiro byo biri ku nze, ai Katonda:
Ndisasula ssaddaaka ez’okwebaza eri ggwe.
1356:13 Yob 33:30, Zab 49:19; 116:8,9Kubanga wawonya emmeeme yange okufa:
Tewawonya bigere byange okwesittala?
Ndyoke ntambule mu maaso ga Katonda
Mu musana ogw’abantu abalamu.