
54
Ya mukulu w’abayimbi; ey’ebintu eby’engoye. Masukiri ya Dawudi: Abazifu bwe bajja ne bagamba Sawulo nti Dawudi teyeekwekedde ewaffe?
1Ndokola, ai Katonda, n’erinnya lyo,
Onsalire omusango mu maanyi go.
254:2 Zab 55:1Wulira okusaba kwange, ai Katonda;
Otege okutu eri ebigambo eby’akamwa kange.
354:3 1 Sam 23:15, Zab 86:14Kubanga bannaggwanga bangolokokeddeko,
N’ab’ekyejo banoonyezza emmeeme yange:
Tebateese Katonda mu maaso gaabwe. (Seera)
454:4 Zab 118:6,7, Is 41:10Laba, Katonda ye mubeezi wange:
Mukama ali wamu n’abo abanyweza emmeeme yange.
554:5 Zab 143:12Aliwalana obubi obwo ku balabe bange:
Obazikirize mu mazima go.
654:6 Zab 52:9Ssaddaaka ey’omwoyo ogw’eddembe gye ndikuwa ggwe:
Neebazanga erinnya lyo, ai Mukama, kubanga ddungi.
754:7 Zab 59:10; 92:11; 112:8; 118:7Kubanga anziye mu kweraliikirira kwonna;
N’eriiso lyange lirabye bye njagala nga bituuse ku balabe bange.